Amosi
Essuula 8
Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya.
2 N'ayogera nti Amosi, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya. Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri.
3 Awo ennyimba ez'omu yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise.
4 Muwulire kino, ai mmwe abaagala okuliira ddala eyeetaaga n'okumalawo abaavu ab'omu nsi, nga mwogera nti
5 Omwezi ogwakaboneka guliggwaako ddi, tulyoke tutunde eŋŋaano? ne ssabbiiti, tusumulule eŋŋaano? nga mutoniwaza efa, era nga munenewaza sekeri, era nga mulyazaamaanya ne minzaani ez'obulimba;
6 tugule abaavu n’effeeza, n'abeetaaga n'omugogo gw'engatto, era tutunde ebisasiro by'eŋŋaano.
7 Mukama alayidde obulungi bwa Yakobo nti Mazima seerabirenga bikolwa byabwe na kimu ennaku zonna.
8 Ensi terikankanira ekyo, buli muntu n'awuubaala abeera omwo? weewaawo, eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era eritabanguka n'ekka nate nga Omugga ogw'e Misiri.
9 Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda, ndigwisa enjuba mu ttuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi obudde nga butangaala.
10 Era ndifuula embaga zammwe okuba okuwuubaala, n'ennyimba zammwe zonna okuba okukungubaga; era ndireeta ebibukutu ku biwato byonna, n'ebiwalaata ku buli mutwe; era ndirufuula ng'okukungubagira omwana eyazaalibwa omu, n'enkomerero yaalwo ng'olunaku olubalagala.
11 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama Katonda, lwe ndiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ebigambo bya Mukama.
12 Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja endala, n'okuva obukiika obwa kkono okutuuka ebuvanjuba; baliddukana mbiro eruuyi n'eruuyi okunoonya ekigambo kya Mukama, so tebalikiraba.
13 Ku lunaku olwo abawala abalungi n'abalenzi balizirika olw'ennyonta.
14 Abalayira ekibi kya Samaliya ne boogera nti Nga Katonda wo, ai Ddaani, bw'ali omulamu; era nti Ng'ekkubo lya Beeruseba bwe liri eddamu; abo baligwa so tebaliyimuka nate.