Amosi
Essuula 2
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Mowaabu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo; kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'agafuula evvu:
2 naye ndiweereza omuliro ku Mowaabu, era gulyokya amayumba ag'e Keriyoosi; era Mowaabu alifa, nga basasamala nga baleekaana nga bafuuwa ekkondeere:
3 era ndimalawo omulamuzi okuva wakati mu kyo, era ndittira abakungu baamu bonna wamu naye, bw'ayogera Mukama.
4 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Yuda bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, so tebakutte biragiro bye, n'eby'obulimba byabwe bibawabizza, bajjajjaabwe bye baagobereranga mu kutambuia kwabwe:
5 naye ndiweereza omuliro ku Yuda, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi.
6 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Isiraeri bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga batunze omutuukirivu olw'effeeza n'eyeetaaga olw'omugogo gw'engatto:
7 abawankirawankira enfuufu ey'oku nsi ey'oku mutwe gw'abaavu, ne bakyamya olugendo olw'abawombeefu: n'omusajja ne kitaawe baliyingira eri omuwala omu, okwonoona erinnya lyange ettukuvu:
8 era bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze basingirwa, ne mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanze.
9 Era naye nazikiriza Omwamoli mu mberi yaabwe, obuwanvu bwe bwali ng'obuwanvu obw'emivule, era yali wa maanyi ng'emyera; era naye nazikiriza ebibala bye engulu n'emmizi gye wansi.
10 Era nabalinnyisa nga mbaggya mu nsi y'e Misiri ne mbaluŋŋamiza emyaka amakumi ana mu ddungu, okulya ensi ey'Omwamoli.
11 Ne ngolokosa ku batabani bammwe okuba bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, ai mmwe abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama.
12 Naye ne muwa Abawonge omwenge okunywa; ne mulagira bannabbi nga mwogera nti Temulagula.
13 Laba, ndibanyigiriza mu kifo kyammwe, ng'eggaali erijjudde ebinywa bwe linyigiriza.
14 Awo okudduka kulibula ow'embiro, so n'ow'amaanyi talyongera maanyi ge, so n'omuzira talyewonya:
15 so n'oyo akwata omutego taliyimirira; era n'omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talyewonya:
16 n'oyo alina obugumu mu b'amaanyi alidduka ng'ali bwereere ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama.