Amosi

1 2 3 4 5 6 7 8 9

0:00
0:00

Essuula 7

Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, yabumba enzige ebimererezi nga bitanudde okumera; era, laba, byali bimererezi okukungula kwa kabaka nga kuwedde.
2 Awo olwatuuka bwe zaamala okulya omuddo ogw'omu nsi ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiridde: Yakobo anaayimirira atya? kubanga mutono.
3 Mukama ne yejjusa olw'ekyo: Tekiribaawo, bw'ayogera Mukama.
4 Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: kale, laba, Mukama Katonda n'ayita abantu okuwakana n'omuliro; ne gwokya obuziba obunene, era gwandimazeewo n'olukalu.
5 Awo ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiridde: Yakobo anaayinza atya okuyimirira? kubanga mutono.
6 Awo Mukama ne yejjusa ekyo: Era n'ekyo tekiribaawo, bw'ayogera Mukama Katonda.
7 Bw'atyo bwe yandaga: kale, laba, Mukama n'ayimirira ku mabbali g'ekisenge ekyazimbibwa n'omugwa ogugera, era ng'akutte omugwa ogugera mu mukono gwe.
8 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Amosi, olaba ki? Ne ŋŋamba nti Omugwa ogugera. Awo Mukama n'ayogera nti Laba, nditeeka omugwa ogugera wakati w'abantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri:
9 n'ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birirekebwawo, n'ebifo ebitukuvu ebya Isiraeri birizisibwa; era ndigolokokera ku nnyumba ya Yerobowaamu n'ekitala.
10 Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Amosi akwekobedde wakati mu nnyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiikiriza bigambo bye byonna.
11 Kubanga Amosi bw'ayogera bw'ati nti Yerobowaamu alifa n'ekitala, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.
12 Era Amaziya n'agamba Amosi nti Ggwe omulabi, genda weddukire mu nsi ya Yuda, oliire eyo emmere, olagulire eyo:
13 naye tolagulanga nate lwa kubiri e Beseri: kubanga kye kifo ekitukuvu ekya kabaka, era ye nnyumba ya kabaka.
14 Awo Amosi n'alyoka addamu n'agamba Amaziya nti Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi; naye nnali musumba era musalizi w'emisukomooli:
15 Mukama n'anziya ku mulimu ogw'okugoberera ekisibo, Mukama n'aŋŋamba nti Genda olagule abantu bange Isiraeri.
16 Kale nno wulira ekigambo kya Mukama: Oyogera nti Tolagulanga ku Isiraeri, so totonnyesanga ku nnyumba ya Isaaka;
17 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mukazi wo aliba mwenzi mu kibuga, ne batabani bo ne bawala bo baligwa n'ekitala, n'ensi yo erigabibwa n'omugwa; naawe kennyini olifiira mu nsi eteri nnongoofu, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.