Luusi
Essuula 4
Awo Bowaazi n'ayambuka eri omulyango, n'atuula eyo: era, laba, muganda we oyo Bowaazi gw'ayogeddeko n'ayitawo; n'amugamba oyo nti Owange, gundi! kyama otuule wano. N'akyama n'atuula.
2 N'atwala abasajja kkumi ku bakadde b'ekibuga n'ayogera nti Mutuule wano. Ne batuula.
3 N'agamba muganda w'omukazi nti Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki:
4 era mbadde ndowooza okukutegeeza nga njogera nti Kigulire mu maaso g'abo abatuula wano, ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Bw'oyagala okukinunula, kinunule: naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye: kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira. N'ayogera nti Ndikinunula.
5 Awo Bowaazi n'ayogera nti Bw'oligula ennimiro mu mukono gwa Nawomi, kirikugwanira ne Luusi Omumowaabu, mukazi w'oyo eyafa, okukuguza, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa.
6 Muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze: ggwe weetwalire okununula kwange okwo: kubanga nze siyinza kukinunula.
7 Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne: n'okwo kwabanga bujulirwa mu Isiraeri.
8 Awo muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Kyegulire. N'anaanula engatto ye.
9 Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi.
10 Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa, erinnya ly'oyo eyafa lireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye: mmwe muli bajulirwa leero.
11 Awo abantu bonna abaali mu mulyango n'abakadde ne boogera nti Ffe tuli bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri: naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu:
12 n'ennyumba yo ebeere ng'ennyumba ya Pereezi; Tamali gwe yazaalira Yuda, olw'ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuvubuka.
13 Awo Bowaazi n'atwala Luusi, naye n'amufumbirwa; n'ayingira gy'ali, Mukama n'amuwa olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi.
14 Abakazi ne bagamba Nawomi nti Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri.
15 Era alibeera gy'oli akomyawo obulamu era aliisa obukadde bwo: kubanga muka mwana wo akwagala, akusanyusa okusinga abaana ab'obulenzi omusanvu, abaamuzaaliddwa.
16 Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amuwambaatira mu kifuba kye, n'aba omulezi we.
17 Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi: oyo ye kitaawe wa Yese, kitaawe wa Dawudi.
18 Era kuno kwe kuzaala kwa Pereezi: Pereezi yazaala Kezulooni;
19 Kezulooni n'azaala Laamu; Laamu n'azaala Amminadaabu;
20 Amminadaabu n'azaala Nakusoni; Nakusoni n'azaala Salumooni;
21 Salumooni n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi;
22 Obedi n'azaala Yese; Yese n'azaala Dawudi.