Luusi
Essuula 1
Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda n'agenda okutuula mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi.
2 N'erinnya ly'omusajja lyali Erimereki, n'erinnya lya mukazi we Nawomi, n'erinnya lya batabani be bombi Maloni ne Kiriyoni, Abaefulaasi ab'e Besirekemuyuda. Ne batuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera eyo.
3 Awo Erimereki bba Nawomi n'afa; naye n'asigalawo ne batabani be bombi.
4 Ne bawasa ku bakazi ba Mowaabu; erinnya ly'omu Olupa, n'erinnya ly'ow'okubiri Luusi: ne bamalayo emyaka nga kkumi.
5 Awo Maloni ne Kiriyoni ne bafa bombi; omukazi n'afiirwa abaana be bombi ne bba.
6 Awo n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo ng'ava mu nsi ya Mowaabu: kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yajjira abantu be ng'abawa emmere.
7 N'ava mu kifo mwe yali, ne baka baana be bombi wamu naye; ne batambula mu kkubo okuddayo mu nsi ya Yuda.
8 Awo Nawomi n'agamba baka baana be bombi nti Mugende muddeyo buli omu ku mmwe mu nnyumba ya nnyina: Mukama abakole eby'ekisa, nga mmwe bwe mwakola abaafa era nange.
9 Mukama abawe okulaba okuwummula, buli omu ku mmwe mu nnyumba ya bba. N'alyoka abanywegera; ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga.
10 Ne bamugamba nti Nedda; naye tuliddayo naawe eri abantu bo.
11 Nawomi n'agamba nti Mukyuke nate, baana bange: kiki ekibaagaza okugenda nange? nkyalina abaana mu lubuto lwange babeere babbammwe?
12 Mukyuke nate, baana bange, mweddireyo; kubanga nkaddiye mpitiridde okuba n'omusajja. Bwe nnaayogera nti Nsuubira, newakubadde nga mbeera n'omusajja ekiro kino, era ne nzaala abaana ab'obulenzi;
13 kale mwandibalindiridde okukula? kyemuliva muleka okuba n'abasajja? nedda, baana bange; kubanga nnumwa nnyo ku lwammwe, kubanga omukono gwa Mukama gwafuluma okulwana nange.
14 Ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba nate amaziga: Olupa n'anywegera nnyazaala we; naye Luusi ne yeegata naye.
15 N'ayogera nti Laba, muggya wo azzeeyo eri abantu be n'eri katonda we: naawe ddayo ogoberere muggya wo.
16 Awo Luusi n'ayogera nti Tonneegayirira kukuleka, n'okuddayo obutakugoberera: kubanga gy'onoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy'onoosulanga, gye nnaasulanga nze: abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange:
17 gy'olifiira, nze gye ndifiira, era gye balinzika: Mukama ankole bw'atyo era n'okusingawo, oba ng'ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa.
18 Awo bwe yalaba ng'amaliridde okugenda naye, n'aleka okwogera naye.
19 Awo abo bombi ne batambula okutuusa lwe baatuuka e Besirekemu. Awo olwatuuka bwe baamala okutuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, abakazi ne boogera nti Ono Nawomi?
20 N'abagamba nti Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala: kubanga Omuyinza w'ebintu byonna yankola ebikaawa ennyo.
21 Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewattu nga sirina kantu: kiki ekibampisa Nawomi, kubanga Mukama yategeeza ku nze, era Omuyinza w'ebintu byonna yambonyaabonya?
22 Bwe batyo Nawomi n'akomawo, ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we, wamu naye, eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu: ne batuuka e Besirekemu nga kyebajje bakungule sayiri.