Luusi

1 2 3 4

0:00
0:00

Essuula 3

Awo Nawomi nnyazaala we n'amugamba nti Mwana wange, siikunoonyeze kuwummula, obe bulungi?
2 Era kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba, awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro.
3 Kale naaba osaabe amafuta, oyambale ebyambalo byo, oserengete mu gguuliro: naye teweetegeeza eri omusajja oyo okutuusa lw'anaamala okulya n'okunywa.
4 Awo olunaatuuka bw'anaagalamira, wekkaanye ekifo mw'anaagalamira, naawe n'oyingira n'obikkula ebigere bye, n'ogalamira; naye anaakubuulira bw'onookola.
5 N'amugamba nti Byonna by'oyogedde naabikola.
6 N'aserengeta mu gguuliro, n'akola nga byonna bwe bibadde nnyazaala we by'amulagidde.
7 Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda okugalamira ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano: n'ajja ng'asooba, n'abikkula ku bigere bye n'agalamira.
8 Awo olwatuuka mu tumbi omusajja n’atya ne yeekyusa era, laba, omukazi ng'agalamidde ku bigere bye.
9 N'ayogera nti Ggwe ani? N'addamu nti Nze Luusi omuzaana wo: kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga oli mununuzi wange.
10 N'ayogera nti Oweebwe Mukama omukisa, mwana wange: olaze ekisa ekisinga obungi enkomerero okukira olubereberye, kubanga togobereranga balenzi, oba baavu oba bagagga.
11 Ne kaakano, mwana wange, totya; naakukola byonna by'oyogera: kubanga ekibuga kyonna eky'abantu bange bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza.
12 Era kaakano kya mazima nga nze mununuzi wo: naye waliwo omulala ansinga nze oluganda.
13 Beera wano ekiro kino, awo olunaatuuka enkya bw'anaakukolera emirimu egy'oluganda, kale, akole emirimu egy'oluganda: naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, kale nze ndikukolera emirimu egy'oluganda, nga Mukama bw'ali omulamu: galamira okeese obudde.
14 N'agalamira ku bigere bye okukeesa obudde: n'agolokoka omuntu nga tannayinza kwekkaanya munne. Kubanga yayogera nti Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.
15 N'ayogera nti Leeta omunagiro gw'oyambadde, ogukwate; n'agukwata: n'agera ebigero mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka: n'agenda mu kibuga.
16 Awo bwe yatuuka eri nnyazaala we, n'ayogera nti Ggwe ani, mwana wange? N'amubuulira byonna omusajja by'amukoledde.
17 N'amugamba nti Ebigero bino omukaaga ebya sayiri abimpadde; kubanga ayogedde nti Togenda eri nnyazaala wo nga tolina kantu.
18 N'alyoka agamba nti Tuula ng'osirika, mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamalawo ekigambo kino leero.