1 Yokaana
Essuula 4
Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab'obulimba bangi abafuluma mu nsi.
2 Mutegeererenga ku kino Omwoyo gwa Katonda: buli mwoyo ogwatula nga Yesu Kristo yajja mu mubiri nga guvudde eri Katonda:
3 na buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda: era ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja, era kaakano gumaze okuba mu nsi.
4 Mmwe muli ba Katonda, abaana abato, era mwabawangula: kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi.
5 Abo ba nsi: kyebava boogera eby'ensi, ensi n'ebawulira.
6 Ffe tuli ba Katonda: ategeera Katonda atuwulira ffe; atali wa Katonda tatuwulira. Ku ekyo kwe tutegeerera omwoyo ogw’amazima n'omwoyo ogw'Obukyamu.
7 Abaagalwa, twagalanenga: kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda.
8 Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala.
9 Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw'oyo.
10 Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe.
11 Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw'atyo, naffe kitugwanira okwagalananga.
12 Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna: bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n'okwagala kwe nga kutuukiridde mu ffe:
13 ku kino kwe tutegeerera nga tubeera mu ye, naye mu ffe, kubanga yatuwa ku Mwoyo gwe.
14 Naffe twalaba era tutegeeza nga Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w'ensi.
15 Buli ayatula nga Yesu ye Mwana wa Katonda, Katonda abeera mu ye, naye mu Katonda.
16 Nate twategeera era twakkiriza okwagala Katonda kw'alina gye tuli. Katonda kwagala; n'oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.
17 Mu ekyo okwagala mwe kutuukirizibwa gye tuli, tubeere n'obugumu ku lunaku olw'omusango; kuba ye nga bw'ali, naffe bwe tuli mu nsi muno.
18 Temuli kutya mu kwagala, naye okwagala okutuukirivu kugobera ebweru okutya, kubanga okutya kulimu okubonerezebwa; n'oyo atya tannatuukirizibwa mu kwagala.
19 Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala ffe.
20 Omuntu bw'ayogera nti Njagala Katonda, n'akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw'atalabangako tayinza kumwagala.
21 Era tulina ekiragiro kino ekyava gy'ali, ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.