1 Yokaana

Essuula : 1 2 3 4 5

0:00
0:00

Essuula 2

Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw'akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu:
2 n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi zonna.
3 Era ku kino kwe tutegeerera nga tumutegedde, bwe tukwata ebiragiro bye.
4 Ayogera nti Mmutegedde, n'atakwata biragiro bye, ye mulimba, n'amazima tegali mu oyo;
5 naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye:
6 ayogera ng'abeera mu ye kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga ye bwe yatambula.
7 Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula ekiragiro eky'edda, kye mwalina okuva ku lubereberye; ekiragiro ekyo eky'edda kye kigambo kye mwawulira.
8 Nate mbawandiikira ekiragiro ekiggya, ekigambo eky'amazima mu ye ne mu mmwe; kubanga ekizikiza kiggwaawo, n'omusana ogw'amazima kaakano gwaka.
9 Ayogera ng'ali mu musana n'akyawa muganda we, ng'akyali mu kizikiza ne kaakano.
10 Ayagala muganda we abeera mu musana, era tewali kimwesittaza.
11 Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso.
12 Mbawandiikira mmwe, abaana abato, kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olw'erinnya lye.
13 Mbawandiikira mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikira mmwe, abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikidde mmwe, abaana abato, kubanga mutegedde Kitaffe.
14 Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.
15 Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw'ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye.
16 Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.
17 Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.
18 Abaana abato, kye kiseera eky'enkomerero, era nga bwe mwawulira ng'omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky'enkomerero.
19 Baava mu ffe, naye tebaali b'ewaffe; kuba singa baali b'ewaffe, bandibadde wamu naffe; naye baatuvaamu era balabisibwe bonna nga si b'ewaffe.
20 Nammwe mufukibwako amafuta eri Omutuknvu, era mumanyi byonna.
21 Sibawandiikidde kubanga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, era kubanga tewali bulimba obuva mu mazima.
22 Omulimba ye ani wabula oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana.
23 Buli muntu yenna agaana Omwana, ne Kitaffe nga tali naye; ayatula Omwana, ne Kitaffe ali naye.
24 Mmwe kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe.
25 Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza, obulamu obutaggwaawo.
26 Ebyo mbawandiikidde olw'ebigambo by'abo abakyamya.
27 Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa ye kubeera mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye ng'okufuka kwe okw'amafuta bwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa mazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye.
28 Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe.
29 Oba nga mumanyi nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaalibwa ye.