Tito

Essuula : 1 2 3

  • Titus - Essuula 2
0:00
0:00

Essuula 2

Naye ggwe yogeranga ebisaanira okuyigiriza okw'obulamu:
2 abasajja abakadde balemenga kuba batamiivu, nga balimu ekitiibwa, nga beegendereza nga balina obulamu olw'okukkiriza, olw'okwagala, olw'okugumiikiriza:
3 n'abakazi abakadde bwe batyo mu kifaananyi kyabwe nga beewombeeka, si abawaayiriza, so si abafugibwa omwenge omungi, abayigiriza ebirungi;
4 balyoke beegenderezesenga abakazi abato okwagalanga babbaabwe, okwagalanga abaana baabwe,
5 okwegenderezanga, okuba n'obulongoofu, okukolanga emirimu mu nnyumba zaabwe, okuba n'ekisa, okugonderanga babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvumibwa:
6 n'abavubuka bwe batyo obabuuliriranga okwegendereza:
7 mu bigambo byonna nga weeraganga ng'ekyokulabirako eky'ebikolwa ebirungi; mu kuyigiriza kwo ng'olaganga obugolokofu, okubaamu ekitiibwa,
8 ebigambo eby'obulamu ebitanenyezeka; oyo atali ku lulwo alyoke akwatibwenga ensonyi, nga talina kibi kya kutwogerako.
9 Buuliriranga abaddu okugonderanga bakama baabwe, okusiimibwanga mu byonna, obutayombanga;
10 obutabbanga, naye okulaganga obwesigwa obulungi bwonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waffe Katonda mu byonna.
11 Kubanga ekisa kya Katonda kirabise, nga kireetera abantu bonna obulokozi,
12 nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n'okwegomba okw'omu nsi, tulyoke tubeerenga abalamu mu mirembe egya kaakano mu kwegendereza n'obutuukirivu n'okutya Katonda,
13 nga tulindirira essuubi ery'omukisa n'okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
14 eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery'envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.
15 Yogeranga ebyo, obibuulirirenga, onenyenga n'obuyinza bwonna, Omuntu yenna takunyoomanga.