Tito
Essuula 1
Pawulo, omuddu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng'okukkiriza kw'abalonde ba Katonda bwe kuli n'okutegeera amazima agali mu kutya Katonda,
2 mu kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yasuubiza ebiro eby'emirembe n'emirembe nga tebinnabaawo;
3 naye mu ntuuko ze yalabisa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri;
4 eri Tito, omwana wange ggeregere ng'okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli: ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy'oli.
5 Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga nga nze bwe nnakulagira;
6 omuntu bw'atabangako musango, ng'alina omukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu, so si abatagonda.
7 Kubanga omulabirizi kimugwanira obutabangako musango, ng'omuwanika wa Katonda; si mukakanyavu, si wa busungu, si ayombera ku mwenge, si akuba, si eyeegomba amagoba mu bukuusa;
8 naye ayaniriza abagenyi, ayagala obulungi, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeekuuma;
9 anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okubuulirira mu kuyigiriza okw'obulamu, era n'okusinga abayomba naye.
10 Kubanga eriyo bangi abatagonda, aboogera ebitaliimu, abalimba, era okusinga ba mu bakomole,
11 abagwanira okuzibibwanga emimwa; kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw'amagoba ag'obukuusa:
12 Omu ku bo, nnabbi waabwe bo, yagamba nti Abakuleete balimba ennaku zonna, ensolo embi, embuto engayaavu.
13 Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova obaboggoleranga n'obukambwe, balyoke babeere n'obulamu olw'okukkiriza
14 balemenga okuwulira enfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya n'ebiragiro by'abantu abakyuka okuleka amazima.
15 Eri abalongoofu byonna birongoofu: naye abasiigibwa obugwagwa n'abatakkiriza eri abo tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigibwa obugwagwa.
16 Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonna ekirungi.