Nakumu

1 2 3

0:00
0:00

Essuula 2

Oyo atandaggira ayambuse mu maaso go; kuuma ekigo, tunuulira ekkubo, nyweza ekiwato kyo, beera n'amaanyi agatasingika.
2 Kubanga Mukama azzaawo ekitiibwa ekingi ekya Yakobo, ng'ekitiibwa ekingi ekya Isiraeri; kubanga abattuluzi babattuludde ne baaya amatabi g'emizabbibu gyabwe.
3 Engazo z'abazira be zisiigibwako gerenge; abantu ab'amaanyi bambadde engoye entwakaavu; ebyuma by'amagaali bimasamasa ku lunaku lw'ateekateeka, era amafumu gagalulwa n'entiisa.
4 Amagaali gatayira mu nguudo mbiro, ganyigana mu nguudo engazi; gafaanana ng'emimuli, gabuukabuuka ng'emyansa.
5 Ajjukira ab'ekitiibwa ababe; beesittala nga bagenda; banguwa okutuuka ku bbugwe ow'ekigo, ogugabo ne guteekebwateekebwa.
6 Enzigi ez'oku migga zigguddwawo, ennyumba ya kabaka ne bagisaanyaawo.
7 Kuzzabu n'avumbuka, n'atwalibwa, abazaana be ne bakaaba nga n'eddoboozi ly'amayiba nga bakuba mu bifuba byabwe.
8 Naye Nineeve kibaddewo okuva mu nnaku ez'edda ng'ekidiba ky'amazzi; naye badduka; Muyimirire, muyimirire, bwe bakoowoola; naye tewali atunuulira ennyuma.
9 Munyage effeeza, munyage ezaabu; ebiterekebwa tebiriiko we bikoma, omuwendo ogw'ebintu byonna ebyegombebwa.
10 Kiri busa, kiri bwereere, kizise: tewali aguma omwoyo, amaviivi gakubagana, okulumizibwa kuli mu biwato byonna, era abantu bonna batukulatukula mu maaso olw'entiisa.
11 Empuku y'empologoma eri ludda wa, n'eddiiro ly'empologoma ento, empologoma ensajja n'enduusi we zaatambuliranga, omwana gw'empologoma, so tewali azitiisa?
12 Empologoma yataagulataagula eky'okumala abaana baayo, n'etugira empologoma zaayo enduusi, n'ejjuza empuku zaayo omuyiggo n'ebisulo byayo ebitaagulwa.
13 Laba, ndi mulabe wo, bw'ayogera Mukama w'eggye; nange ndyokya amagaali gaakyo mu mukka, n'ekitala kirizikiriza empologoma zaakyo ento; era ndiggya ku nsi ky'otaagula, n'eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.