Nakumu

1 2 3

0:00
0:00

Essuula 1

Omugugu gwa Nineeve. Ekitabo eky'okwolesebwa kwa Nakkumu, Omwerukoosi.
2 Mukama ye Katonda w'obuggya, era awalana eggwanga; Mukama awalana eggwanga, era ow'obusungu obungi; Mukama awalana eggwanga abamukyawa, era aterekera abalabe be obusungu.
3 Mukama tatera kusunguwala, alina amaanyi mangi, so talitaatira n'akatono. Ekkubo lya Mukama liyita mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ze nfuufu z'ebigere bye.
4 Akangavvula ennyanja n'agikaza; era akaza emigga gyonna; Basani ebabuse ne Kalumeeri, era ekimuli eky'oku Lebanooni kibabuse.
5 Ensozi zikankana gy'ali, obusozi ne busaanuuka; era ettaka ne limmuka mu maaso ge; weewaawo, ensi zonna ne bonna abazibeeramu.
6 Mu maaso g'obusungu bwe ani ayinza okuyimirira? ani ayinza okubeerawo obusungu bwe nga bunyiikidde? obukambwe bwe bufukibwa ng'omuliro, n'enjazi zimenyebwamenyebwa ye.
7 Mukama mulungi, kigo ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; era amanyi abo abamwesiga.
8 Naye ne mukoka akulukuta alimalirawo ddala ekifo kyakyo, era abalabe be alibagobera mu kizikiza.
9 Kye muteesa ku Mukama kiki? alimalirawo ddala; obunaku tebuliyimuka omulundi ogw'okubiri.
10 Kubanga newakubadde nga bali ng'amaggwa agakwataganye, era nga batobye kwenkana mu kunywa kwabwe, balyokerwa ddala ng'ensambu enkalu.
11 Mu ggwe muvudde omu alowooza akabi ku Mukama, ateesa ebibi.
12 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Newakubadde nga balina amaanyi amakakafu era bangi, era balizikirira, naye alivaawo. Newakubadde nga nakulabisa ennaku, sikyakulabisanga nnaku.
13 Era kaakano naamenya ekikoligo kye kive ku ggwe, era naakutulakutula ebikusiba.
14 Ne Mukama alagidde ku ggwe baleme okweyongera okusiga ku linnya lyo; ndizikiriza ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse bive mu nnyumba ya bakatonda bo; ndisima entaana yo; kubanga oli mugwagwa.
15 Laba, ku nsozi ebigere by'oyo abuulirira ebigambo ebirungi, alangira emirembe! Weekuuma embaga zo, ggwe Yuda, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga omubi takyayitanga wakati wo; azikirira ddala.