Yona

1 2 3 4

0:00
0:00

Essuula 4

Naye Yona n'atasiima n'akatono n'anyiikaala.
2 N'asaba Mukama n'ayogera nti Nkusaba, ai Mukama, saayogera bwe ntyo nga nkyali mu nsi y'ewaffe. Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi; kubanga nategeera nti oli Katonda mulungi ajjudde okusaasira alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era ataleeta bubi.
3 Kale nno, ai Mukama, nkwegayiridde, onziyeko obulamu bwange; kubanga waakiri nfe okusinga okuba omulamu.
4 Mukama n'ayogera nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala?
5 Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku luuyi olw'ekibuga olwolekedde ebuvanjuba n'asiisira eyo ekisiisira n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo okutuusa lw'aliraba ekibuga bwe kiriba.
6 Mukama Katonda n'ategeka ekiryo n'akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye. Awo Yona n'asanyuka nnyo olw'ekiryo.
7 Naye Katonda n'ategeka ekiwuka obudde bwe bwakya enkya, ne kiruma ekiryo ne kiwotoka.
8 Awo olwatuuka enjuba bwe yavaayo, Katonda n'ategeka embuyaga ez'obuvanjuba ez'olubugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe gwe, n'azirika n'asaba afe, n'ayogera nti Waakiri nfe okusinga okuba omulamu.
9 Katonda n'agamba Yona nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala ku lw'ekiryo? N'ayogera nti Nkoze bulungi okusunguwala okutuusa lwe ndifa.
10 Mukama n'ayogera nti Osaasidde ekiryo kyotaakolera mulimu so ky'otaameza; ekyamerera ekiro ekimu, ne kibulira ekiro ekimu;
11 nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene; omuli abantu akasiriivu mu obukumi obubiri n'okusukkirirawo abatayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n'omukono gwabwe ogwa kkono; era n'ensolo ennyingi?