Yona

1 2 3 4

0:00
0:00

Essuula 1

Awo ekigambo kya Mukama kyajja eri Yona, omwana wa Amittayi, nga kyogera nti
2 Golokoka, ogende e Nineeve ekibuga ekyo ekinene okirangirire; kubanga obubi bwabwe bulinnye butuuse mu maaso gange.
3 Naye Yona n'agolokoka okuddukira e Talusiisi okuva mu maaso ga Mukama; n'aserengeta e Yopa n'alaba ekyombo nga kigenda e Talusiisi; awo n'abawa empooza yaakyo n'asaabala omwo agende nabo e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama.
4 Naye Mukama n'asindika empewo ennyingi ku nnyanja, omuyaga omungi ne guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka.
5 N'abo abaavuga ne batya ne bakaabirira buli muntu katonda we; ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng'asse mu kisenge eky'omu kyombo, ng'agalamidde, yeebase otulo.
6 Awo omugoba w'ekyombo n'ajja gy'ali n'amugamba nti Obadde otya, ggwe omwebasi? golokoka, osabe Katonda wo, era mpozzi Katonda anaatujjukira tuleme okuzikirira.
7 Ne boogera buli muntu ne muganda we nti Jjangu tukube akalulu tulyoke tutegeere gwe tulangibwa akabi kano okutubaako. Awo ne bakuba akalulu, akalulu ne kagwa ku Yona.
8 Awo ne bamugamba nti Kale tubuulire gwe tulangibwa akabi kano okutubaako; omulimu gwo mulimu ki? ova wa? ensi yammwe nsi ki? ekika kyammwe kika ki?
9 N'abagamba nti Ndi Mwebbulaniya; ntya Mukama, Katonda ow'omu ggulu eyakola ennyanja n'olukalu.
10 Awo abantu ne batya nnyo ne bamugamba nti Kino kiki ky'okoze ggwe? Kubanga abantu baamanya nti adduse mu maaso ga Mukama, kubanga yali ng'ababuulidde.
11 Awo ne bamugamba nti Tunaakukola tutya ennyanja etuteekere? kubanga ennyanja yali ng'egenda yeeyongera okufuukuuka ennyo.
12 N'abagamba nti Munsitule munsuule mu nnyanja; kale ennyanja eneebateekera; kubanga mmanyi nti omuyaga guno omungi gubakutte okubalanga nze.
13 Naye abantu ne bavuga nnyo okuddayo okugoba ettale; naye ne batayinza; kubanga ennyanja yagenda yeeyongera bweyongezi okufuukuuka okubaziyiza.
14 Kyebaava bakaabirira Mukama ne boogera nti Tukwegayiridde, ai Mukama, tukwegayiridde tuleme okuzikirira ku lw'obulamu obw'omuntu ono; so totussaako musaayi ogutaliiko musango; kubanga ggwe, ai Mukama, ggwe okoze ky'oyagala.
15 Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja; awo omuyaga ogwali ku nnyanja ne gufa.
16 Awo abantu ne batya nnyo Mukama; ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama ne beeyama obweyamo.
17 Mukama n'ateekateeka ekyennyanja ekinene kimire Yona; Yona n'amala mu lubuto olw'ekyennyanja ennaku ssatu emisana n'ekiro.