Danyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12

0:00
0:00

Essuula 6

Daliyo yalaba nga kirungi okukuza mu bwakabaka abaamasaza kikumi mu abiri, abalibuna obwakabaka bwonna:
2 nga waggulu waabwe eriyo abakulu basatu, omu ku abo nga ye Danyeri: abaamasaza abo babalenga omusolo mu maaso gaabwe, kabaka aleme okufiirwa.
3 Awo Danyeri oyo n'agulumizibwa okusinga abakulu n'abaamasaza, kubanga omwoyo omulungi ennyo gwali mu ye: era kabaka yali alowooza okumuwa okufuga obwakabaka bwonna.
4 Abakulu n'abaamasaza ne balyoka banoonya ensonga eneesinga Danyeri mu bigambo eby'obwakabaka: naye ne batayinza kulaba nsonga newakubadde akabi: kubanga yali mwesigwa, so ne watalabika mu ye kwonoona kwonna newakubadde akabi.
5 Awo abasajja abo ne boogera nti Tetugenda kulaba nsonga eneesinga Danyeri oyo, bwe tutaligiraba eri ye mu bigambo eby'amateeka ga Katonda we.
6 Awo abakulu abo n'abaamasaza ne bakuŋŋaana eri kabaka, ne bamugamba bwe bati nti Kabaka Daliyo, obenga omulamu emirembe gyonna.
7 Abakulu bonsatule ab'obwakabaka, abamyuka n'abaamasaza, abakungu n'abafuga, bateesezza wamu okuteeka etteeka lya kabaka, n'okulagira ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna ennaku amakumi asatu, wabula ng'asabye ggwe, ai kabaka, alisuulibwa mu mpuku ey'empologoma.
8 Kale, ai kabaka, lagira ekiragiro ekyo, era osse akabonero ko ku biwandiikiddwa ebyo, bireme okuwaanyisibwa, ng'amateeka ag'Abameedi n'Abaperusi bwe gali, agatajjulukuka.
9 Kabaka Daliyo kyeyava assa akabonero ke ku biwandiikiddwa n'ekiragiro.
10 Awo Danyeri bwe yamanya ng'ebiwandiikiddwa bissibbwako akabonero, n'ayingira mu nnyumba ye: (era amadirisa ge gaali gagguddwawo mu nju ye nga goolekedde Yerusaalemi;) n'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, ne yeebaza mu maaso ga Katonda we, nga bwe yakolanga edda.
11 Awo abasajja abo ne bakuŋŋaana ne basanga Danyeri ng'asaba era nga yeegayirira mu maaso ga Katonda we.
12 Ne balyoka basembera, ne boogera mu maaso ga kabaka ku kiragiro kya kabaka: nti Tewassa kabonero ko ku kiragiro, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna ennaku amakumi asatu, wabula ng'asabye ggwe, ai kabaka, alisuulibwa mu mpuku ey'empologoma? Kabaka n'addamu n'ayogera nti Ekigambo ekyo kya mazima, ng'amateeka ag'Abameedi n'Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.
13 Ne balyoka baddamu ne boogerera mu maaso ga kabaka nti Danyeri oyo, ow'omu baana ab'obunyage bwa Yuda, takulowooza, ai kabaka, newakubadde ekiragiro kye wassaako akabonero ko, naye asaba emirundi esatu buli lunaku.
14 Awo kabaka, bwe yawulira ebigambo ebyo, n'anyiiga nnyo, n'ateeka omutima gwe ku Danyeri okumuwonya: n'azibya obudde ng'ategana okumulokola.
15 Awo abasajja abo ne bakuŋŋaana eri kabaka, ne bagamba kabaka nti Tegeera, ai kabaka, nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewabanga kiragiro newakubadde etteeka kabaka ly'anyweza eriwaanyisikika.
16 Kabaka n'alyoka alagira, ne baleeta Danyeri, ne bamusuula mu mpuku ey'empologoma. Kabaka n'ayogera n'agamba Danyeri nti Katonda wo gw'oweerezanga bulijjo, oyo anaakuwonya.
17 Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'empuku: kabaka n'alissaako akabonero ke ye, era n'akabonero ak'abaami be: ekigambo kyonna kireme okuwaanyisibwa eri Danyeri.
18 Kabaka n'alyoka agenda mu lubiri lwe, ekiro ekyo n'atalya mmere: so tebaamuleetera bivuga mu maaso ge: otulo ne tumubula.
19 Awo kabaka n'akeera nnyo mu makya n'agolokoka, n'ayanguwa n'agenda ku mpuku ey’empologoma.
20 Era bwe yasembera ku mpuku awali Danyeri, n'ayogererera waggulu n'eddoboozi ery'ennaku: kabaka n'ayogera n'agamba Danyeri nti Ggwe Danyeri, omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw'oweerezanga bulijjo, ayinza okukuwonya eri empologoma?
21 Danyeri n'alyoka agamba kabaka nti Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna.
22 Katonda wange yatumye malayika we, n'aziba emimwa gy'empologoma, ne zitankola bubi: kubanga mu maaso ge nalabika nga siriiko kabi: era ne mu maaso go, ai kabaka, sikolanga kabi.
23 Kabaka n'alyoka asanyuka nnyo nnyini, n'alagira okuggyamu Danyeri mu mpuku. Awo Danyeri n'aggibwa mu mpuku, so mpaawo kabi konna akaamulabwako, kubanga yali yeesize Katonda we.
24 Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja abo, abaaloopa Danyeri ne babasuula mu mpuku ey'empologoma, bo, n'abaana baabwe, ne bakazi baabwe: empologoma ne zibayinza, ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna, nga tebannatuuka wansi ddala mu mpuku.
25 Awo kabaka Daliyo n'alyoka awandiikira abantu bonna, amawanga n'ennimi, abatuula mu nsi zonna: nti Emirembe gyeyongere gye muli.
26 Nteeka etteeka, mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange abantu bakankanenga batyenga mu maaso ga Katonda wa Danyeri: kubanga oyo ye Katonda omulamu, era omunywevu emirembe gyonna, n'obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa n'okufuga kwe kulituukira ddala ku nkomerero:
27 awonya era alokola, era akola obubonero n'eby'amagero mu ggulu ne mu nsi: eyawonya Danyeri eri amaanyi g'empologoma.
28 Bw'atyo Danyeri oyo n'alaba omukisa mu mirembe gya Daliyo, ne mu mirembe gya Kuulo Omuperusi.