Danyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12

0:00
0:00

Essuula 3

Nebukadduneeza kabaka yakola ekifaananyi ekya zaabu, obuwanvu bwakyo emikono nkaaga, n'obugazi bwakyo emikono mukaaga: n'akiyimiriza mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza ery'e Babulooni.
2 Awo Nebukadduneeza kabaka n'atuma okukuŋŋaanya abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abakungu, n'ab'amateeka, n'abakulu bonna ab'omu masaza, bajje eri ekifaananyi Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza bwe kiriwongebwa.
3 Awo abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga, n'abalamuzi n'abawanika, n'abakungu, n'ab'amateeka, n'abakulu bonna ab'omu masaza, ne bakuŋŋaana olw'okuwonga ekifaananyi Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza: ne bayimirira mu maaso g'ekifaananyi Nebukadduneeza kye yayimiriza.
4 Awo omulangirizi n'ayogerera waggulu nti Mmwe mulagirwa, mmwe abantu, amawanga, n'ennimi,
5 bwe munaawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, ne mulyoka muvuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza:
6 era buli anaalema okuvuunama n'okusinza mu kiseera ekyo alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro.
7 Awo abantu bonna bwe baawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga; n'amadinda, n'ekidongo, na buli ngeri yonna evuga, abantu bonna amawanga, n'ennimi, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza.
8 Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bajja, ne baloopa Abayudaaya.
9 Ne baddamu ne bagamba Nebukadduneeza kabaka nti Ai kabaka, obeerenga omulamu emirembe gyonna.
10 Ggwe, ai kabaka, wateeka etteeka, nti buli anaawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, anaavuunama n'asinza ekifaananyi ekya zaabu:
11 era buli anaalema okuvuunama n'okusinza alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro.
12 Waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu bigambo eby'essaza ery'e Babulooni, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego: abasajja abo, ai kabaka, tebakulowoozezza: tebaweereza bakatonda bo, so tebasinza kifaananyi kya zaabu kye wayimiriza.
13 Awo Nebukadduneeza n'alyoka asunguwala ne yeejuumuula n'alagira okuleeta Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga kabaka.
14 Nebukadduneeza n'addamu n'abagamba nti Mmwe Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mukigenderedde bugenderezi obutaweereza katonda wange, n'obutasinza kifaananyi kya zaabu kye nnayimiriza.
15 Kale nno, bwe munakkiriza nga muwulidde eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, okuvuunama n'okusinza ekifaananyi kye nnakola, kale: naye bwe mutaasinze, mu kiseera ekyo munaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era katonda aluwa oyo anaabawonya mu mikono gyange?
16 Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ne baddamu ne bagamba kabaka nti Ai Nebukadduneeza, tekitugwanira kukuddamu mu kigambo ekyo.
17 Bwe kinaaba bwe kityo; Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo, ai kabaka.
18 Naye bwe kitaabe bwe kityo, tegeera, ai kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza.
19 Awo Nebukadduneeza n'alyoka yeejuumuulira ddala, n'engeri y'amaaso ge n'ewaanyisibwa eri Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego: n'ayogera, n'alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okukira bwe kyali kyase.
20 N'alagira ab'amaanyi abamu ab'omu ggye lye okusiba Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, okubasuula mu kikoomi ekyaka n'omuliro.
21 Awo abasajja abo ne balyoka babasiba nga bambadde seruwale zaabwe, n'ebizibawo byabwe n'eminagiro gyabwe, n'engoye, zaabwe endala, ne babasuula wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro.
22 Awo kubanga kabaka yabakuutirira ddala, n'ekikoomi nga kyase nnyo, ennimi z'omuliro ne zitta abasajja abo abaakwata Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego.
23 N'abasajja abo abasatu, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ne bagwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro, nga basibiddwa.
24 Awo Nebukadduneeza kabaka n'alyoka yeewuunya, n'ayanguwa n'agolokoka: n'ayogera n'agamba abakungu be nti Tetusudde basajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro? Ne baddamu ne bagamba kabaka nti Mazima, ai kabaka.
25 N'addamu n'ayogera nti Laba, nze ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambulira wakati mu muliro, so nga tebaliiko kabi: n'okufaanana kw'ow'okuna kuliŋŋanga omwana wa bakatonda.
26 Nebukadduneeza n'alyoka asembera ku mulyango gw'ekikoomi ekyaka n'omuliro: n'ayogera nti Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mmwe abaddu ba Katonda ali waggulu ennyo, mufulume mujje wano. Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego ne balyoka bafuluma wakati mu muliro.
27 N'abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga; n'abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziwaanyisibbwa, so n'olusu lw'omuliro nga terubabaddeeko.
28 Nebukadduneeza n'ayogera nti Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonyezza abaddu be abamwesize ne bawaanyisa ekigambo kya kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe, baleme okuweereza newakubadde okusinza katonda yenna, wabula Katonda waabwe bo.
29 Kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n'eggwanga, n'olulimi, abanaayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abedunego, balitemebwatemebwa, n'ennyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.
30 Kabaka n'alyoka akuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu ssaza ery'e Babulooni.