Oluyimba lwa Sulemaani
Essuula 5
Nzize mu nnimiro yange, mwannyinaze mugole wange: Nnoze mooli yange n'eby'akaloosa byange; Ndidde ebisenge byange eby'enjuki n'omubisi gwange; Nnywedde omwenge gwange n'amata gange. Mulye, mmwe ab'omukwano; Munywe, weewaawo, mukkute, mmwe baganzi bange.
2 Nnali neebase, naye omutima gwange nga gulaba: Lye ddoboozi lya muganzi wange, akoona ng'ayogera nti Nzigulira, mwannyinaze, gwe njagala, ejjiba lyange, owange ataliiko bbala: Kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, Emivumbo gy'enviiri zange gitobye amatondo eg'ekiro.
3 Nnyambudde ekizibawo kyange; naakyambala ntya? Nnaabye ebigere: naabyonoona ntya?
4 Muganzi wange n'ayingiza omukono gwe awali ekituli eky'omu luggi, Omwoyo ne gunnuma ku lulwe.
5 Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange; Emikono gyange ne gitonnya mooli, N'engalo zange nga zitonnya mooli ekulukuta, Ku mikonda egy'ekisiba.
6 Ne nzigulirawo muganzi wange; Naye muganzi wange yali nga yeegendedde, ng'avuddewo. Omwoyo gwange gubadde guntyemuse bw'ayogedde: Ne mmunoonya, naye ne ssiyinza kumulaba; Ne mmuyita, naye n'atanziramu.
7 Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bandaba, Ne bankuba ne banfumita; Abakuumi ba bbugwe ne banziyako omunagiro gwange.
8 Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, bwe munaalaba muganzi wange, Mumubuulirenga ng'okwagala kugenda kunzita.
9 Muganzi wo, kye ki okusinga omuganzi omulala, Ggwe akira abakazi bonna obulungi? Muganzi wo kye ki okusinga omuganzi omulala, N'okulayiza n'otulayiza bw'otyo?
10 Muganzi wange mutukuvu era mumyufu Atabula mu kakumi.
11 Omutwe gwe guli nga zaabu ennungi ennyo nnyini, Emivumbo gy'enviiri ze gya masadde era middugavu nga nnamuŋŋoona.
12 Amaaso ge gali ng'amayiba ku mabbali g'obugga obw'amazzi; Agaanaazibwa n'amata era agaateekebwamu obulungi.
13 Amatama ge gali ng'omusiri ogw'emiddo egy'akaloosa, ng'ebifunvu ebimerako enva eziwunya obulungi: Emimwa gye giri ng'amalanga, nga gitonnya mooli ekulukuta.
14 Emikono gye giri ng'empeta eza zaabu eziteekebwamu berulo: Omubiri gwe guli ng'omulimu ogw'amasanga ogubikkiddwako safiro.
15 Amagulu ge gali ng'empagi ez'amayinja amanyirivu ezisimbibwa ku binnya ebya zaabu ennungi: Enfaanana ye eri nga Lebanooni, ewooma nnyo nnyini ng'emivule.
16 Akamwa ke kalungi nnyo nnyini: weewaawo, yenna wa kwagalwa. Muganzi wange bw'ali bw'atyo, era bw'ali bw'atyo mukwano gwange, Mmwe abawala ba Yerusaalemi.