Oluyimba lwa Sulemaani
Essuula 4
Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi; Amaaso go mayiba ennyuma w'olugoye lw'ogabisseeko: Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalamidde ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi.
2 Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu.
3 Emimwa gyo giri ng'ewuzi ey'olugoye olutwakaavu, N'akamwa ko kalungi: Ekyenyi kyo kiri ng'ekitundu ky'ekkomamawanga Ennyuma w'olugoye lw'obisse ku maaso.
4 Ensingo yo eri ng'ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okuterekamu ebyokulwanyisa, Omuwanikibwa engabo olukumi, Engabo zonna ez'abasajja ab'amaanyi.
5 Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo, Abaliira mu malanga.
6 Okutuusa obudde nga bukedde, ebisiikirize ne biddukira ddala, Neegendera eri olusozi olwa mooli. N'eri akosozi ak'omugavu.
7 Oli mulungi wenna, gwe njagala; So ku ggwe tekuli bbala.
8 Jjangu tugende ffembi okuva ku Lebanooni, mugole wange, Ffembi okuva ku Lebanooni: Lengera ng'oyima ku ntikko ya Amana, Ku ntikko ya Seniri ne Kerumooni, Ng'oyima awali empuku ey'empologoma, Ku nsozi ez'engo.
9 Osanyusizza omutima gwange mwannyinaze, mugole wange Osanyusizza omutima gwange n'eriiso lyo erimu, N'omukuufu ogumu ogw'omu bulago bwo.
10 Okwagala kwo nga kulungi mwannyinaze, mugole wange Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge; N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi!
11 Emimwa gyo, ai mugole wange, gitonnya ng'ebisenge by'enjuki: Omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo; N'okuwunya kw'ebyambalo byo kuli ng'okuwunya kwa Lebanooni.
12 Mwannyinaze, mugole wange, lwe lusuku olwasibibwa; Lwe luzzi olwasibibwa, ye nsulo eyateekebwako akabonero.
13 Ebimera byo lusuku lwa mikomamawanga, olulina ebibala eby'omuwendo omungi; Kofera n'emiti egy'omugavu:
14 Omugavu ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emiti gyonna egy'omugavu; Mooli ne akalosi, wamu n'eby'akaloosa byonna ebisinga obulungi.
15 Ggwe nsulo y'ennimiro, Oluzzi olw'amazzi amalamu, Era emigga egikulukuta egiva ku Lebanooni.
16 Muzuukuke, mmwe embuyaga eziva obukiika obwa kkono; nammwe mujje, ez’obukiika obwa ddyo: Mukuntire ku nnimiro yange, eby’akaloosa ebyamu bikulukute. Muganzi wange ajje mu nnimiro ye; Alye ebibala bye eby'omuwendo omungi.