Nekkemiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13

0:00
0:00

Essuula 7

Awo olwatuuka bbugwe bwe yaggwa okuzimba, era nga mmaze okusimba enzigi, n'abaggazi n'abayimbi n'Abaleevi nga balondeddwa,
2 awo muganda wange Kanani ne Kananiya omukulu w'ekigo ne mbakwasa Yerusaalemi: kubanga yali musajja mwesigwa, era yatyanga Katonda okusinga bangi.
3 Ne mbagamba nti Enzigi za Yerusaalemi teziggalwangawa ng'omusana tegunnakangaalukuka; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba: era mussengawo abakuumi ku abo abali mu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, era buli muntu ng'ayolekera ennyumba ye.
4 Era ekibuga kyali kigazi era kinene: naye abantu abaali omwo baali batono, n'ennyumba nga tezizimbiddwa.
5 Katonda wange n'akiteeka mu mutima gwange okukuŋŋaanya abakungu n'abakulu n'abantu babalibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Ne ndaba ekitabo eky'okuzaalibwa kw'abo abaasooka okwambuka, ne ndaba, nga kiwandiikiddwamu nti
6 Bano be baana b'essaza abaayambuka okuva mu bunyage bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;
7 abajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Azaliya, Laamiya, Nakamani, Moluddekaayi, Birusani, Misuperesi, Biguvayi, Nekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja ab'oku bantu ba Isiraeri:
8 abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri.
9 Abaana ba Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri.
10 Abaana ba Ala, lukaaga mu ataano mu babiri.
11 Abaana ba Pakasumowaabu, ow'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi mu munaana
12 Abaana ba Eramu, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana.
13 Abaana ba Zattu, lunaana mu ana mu bataano.
14 Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga.
15 Abaana ba Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana.
16 Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana.
17 Abaana ba Azugaadi, enkumi bbiri mu ebikumi bisatu mu abiri mu babiri.
18 Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu.
19 Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu.
20 Abaana ba Adini, lukaaga mu ataano mu bataano.
21 Abaana ba Ateri, owa Keezeekiya, kyenda mu munaana.
22 Abaana ba Kasumu, ebikumi bisatu mu abiri mu munaana.
23 Abaana ba Bezayi, ebikumi bisatu mu abiri mu bana.
24 Abaana ba Kalifu, kikumi mu kkumi mu babiri.
25 Abaana ba Gibyoni, kyenda mu bataano.
26 Abasajja ab'e Besirekemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana.
27 Abasajja ab'e Anasosi; kikumi mu abiri mu munaana.
28 Abasajja ab'e Besuwazumavesi, amakumi ana mu babiri.
29 Abasajja ab'e Kiriyasuyalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu.
30 Abasajja ab'e Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu.
31 Abasajja ab'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri.
32 Abasajja ab'e Beseri ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu.
33 Abasajja ab'e Nebo eky'okubiri, amakumi ataano mu babiri.
34 Abaana ba Eramu ow'okubiri, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana.
35 Abaana ba Kalimu, ebikumi bisatu mu abiri.
36 Abaana ba Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano.
37 Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu.
38 Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu.
39 Bakabona: abaana ba Yedaya, ow'oku nnyumba ya Yesuwa; lwenda mu nsanvu mu basatu.
40 Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri.
41 Abaana ba Pasukuli, lukumi mu ebikumi bibiri mu ana mu musanvu.
42 Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi mu musanvu.
43 Abaleevi: abaana ba Yesuva ow'e Kadumyeri, ow'oku baana ba Kodeva, nsanvu mu bana.
44 Abayimbi: abaana ba Asafu, kikumi mu ana mu munaana
45 Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana.
46 Abanesinimu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi;
47 abaana ba Keriso, abaana ba Siya, abaana ba Padoni;
48 abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Salumayi;
49 abaana ba Kanani, abaana ba Gidderu, abaana ba Gakali;
50 abaana ba Leyaya, abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda;
51 abaana ba Gazzamu, abaana ba Uzza, abaana ba Paseya;
52 abaana ba Besayi abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefusesimu;
53 abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli;
54 abaana ba Bazulisi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa;
55 abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema;
56 abaana ba Neziya, abaana ba Katifa.
57 Abaana b'abaddu ba Sulemaani; abaana ba Sotayi, abaana ba Soferesi, abaana ba Perida;
58 abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi;
59 abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Amoni.
60 Abanesinimu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri.
61 Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddoni, ne Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri:
62 abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ana mu babiri.
63 Ne ku bakabona: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya lyabwe.
64 Abo ne banoonya okuwandiikibwa kwabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne kutalabika: kyebaava babavvoola ne babagoba mu bwakabona.
65 Tirusaasa n'abagamba baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa kabona lw'aliyimirira alina Ulimu ne Sumimu.
66 Ekibiina kyonna wamu kyaali obukumi buna mu enkumi bbiri mu bikumi bisatu mu nkaaga,
67 obutassaako baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe kasanvu mu ebikumi bisatu mu asatu mu musanvu: era baalina abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi ebikumi bibiri mu ana mu bataano.
68 Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga; ennyumbu zaabwe ebikumi bibiri mu ana mu ttaano;
69 eŋŋamira zaabwe ebikumi bina mu asatu mu ttaano; endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri.
70 Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo eri omulimu. Tirusaasa n'awaayo mu ggwanika daliki eza zaabu lukumi, ebibya amakumi ataano, ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu.
71 Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo mu ggwanika ery'omulimu daliki eza zaabu obukumi bubiri, ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri mu bikumi bibiri.
72 N'ebyo abantu abalala bye baawa byali daliki eza zaabu obukumi bubiri ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri, n'ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.
73 Awo bakabona n'Abaleevi n'abaggazi n'abayimbi n'abamu ku bantu n'Abanesinimu ne Isiraeri yenna ne babeeranga mu Bibuga byabwe. Awo omwezi gw'omusanvu bwe gwatuuka, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga byabwe.