Nekkemiya
Essuula 12
Era bano be bakabona n'Abaleevi abaayambuka ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa, Seraya ne Yeremiya ne Ezera;
2 ne Amaliya ne Malluki ne Kattusi;
3 ne Sekaniya ne Lekumu ne Meremoosi;
4 ne Iddo ne Ginnesoyi ne Abiya;
5 ne Miyamini ne Maadiya ne Biruga;
6 ne Semaaya ne Yoyalibu ne Yedaya;
7 ne Sallu ne Amoki ne Kirukiya ne Yedaya. Abo be baali abakulu ba bakabona n’aba baganda baabwe mu nnaku za Yesuwa.
8 Era nate Abaleevi; Yesuwa ne Binnuyi ne Kadumyeri ne Serebiya ne Yuda ne Mattaniya eyali omukulu w'okwebaza, ye ne baganda be.
9 Era Bakubukiya ne Unni baganda baabwe ne baboolekera mu bisanja.
10 Yesuwa n'azaala Yoyakimu, Yoyakimu n'azaala Eriyasibu, Eriyasibu n'azaala Yoyaada,
11 Yoyaada n'azaala Yonasaani, Yonasaani n'azaala Yadduwa.
12 Mu nnaku za Yoyakimu ne wabaawo bakabona emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe; owa Seraya, Meraya; owa Yeremiya, Kananiya;
13 owa Ezera, Mesullamu; owa Amaliya, Yekokanani;
14 owa Malluki, Yonasaani; owa Sebaniya, Yusufu;
15 owa Kalimu, Aduna; owa Merayoosi, Kerukayi;
16 owa Iddo, Zekkaliya; owa Ginaesoni, Mesullamu;
17 owa Abiya, Zikuli; owa Miniyamini, owa Mowadiya, Pirutayi;
18 owa Biruga, Sammuwa; owa Semaaya, Yekonasani;
19 n'owa Yoyalibu, Mattenayi; owa Yedaya, Uzzi;
20 owa Sallayi, Kallayi; owa Amoki, Eberi;
21 owa Kirukiya, Kasabiya; owa Yedaya, Nesaneeri.
22 Abaleevi mu nnaku za Eriyasibu, Yoyada ne Yokanani ne Yadduwa, ne bawandiikibwa nga gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe: era ne bakabona, Daliyo Omuperusi nga ye kabaka.
23 Batabani ba Leevi, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, ne bawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe okutuusa ku nnaku za Yokanani mutabani wa Eriyasibu.
24 N'abakulu b'Abaleevi: Kasabiya ne Serebiya ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri ne baganda baabwe nga baboolekedde okutenderezanga n'okwebazanga ng'ekiragiro bwe kyali ekya Dawudi omusajja wa Katonda, ekisanja nga kyolekera ekisanja.
25 Mattaniya ne Bakubukiya ne Obadiya ne Mesullamu ne Talumooni ne Akkubu be baali abaggazi nga bakuuma amawanika ag'oku miryango.
26 Abo be baaliwo mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, n'ebya Ezera kabona omuwandiisi.
27 Awo bwe baatukuza bbugwe wa Yerusaalemi, ne banoonya Abaleevi mu bifo byabwe byonna, okubaleeta e Yerusaalemi, okukwata embaga ey'okutukuza n'essanyu, nga beebaza era nga bayimba, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga.
28 Abaana b'abayimbi ne bakuŋŋaana, okuva mu lusenyi olwetoolodde Yerusaalemi ne mu byalo eby'Abanetofa;
29 era ne mu Besugirugaali ne mu nnimiro ez'oku Geba ne Azumaveesi kubanga abayimbi baali beezimbidde ensiisira okwetooloola Yerusaalemi.
30 Awo bakabona n'Abaleevi ne beerongoosa; ne balongoosa abantu n'emiryango ne bbugwe.
31 Awo ne nnyambusa abakulu ba Yuda ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene abeebaza ne batambula nga basimbye ennyiriri; ekimu nga kitambulira ku mukono ogwa ddyo ku bbugwe mu kkubo ery'omulyango ogw'obusa:
32 n'oluvannyuma lwabwe Kosaaya n'atambula n'ekitundu eky'abakulu ba Yuda,
33 ne Azaliya ne Ezera ne Mesullamu
34 ne Yuda ne Benyamini ne Semaaya ne Yeremiya,
35 n'abamu ku baana ba bakabona nga balina amakondeere: Zekkaliya mutabani wa Yonasaani mutabani wa Semaaya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikaaya mutabani wa Zakkuli mutabani wa Asafu;
36 ne baganda be, Semaaya ne Azaleeri ne Miralayi ne Giralayi ne Maayi ne Nesaneeri ne Yuda ne Kanani, nga balina ebivuga ebya Dawudi omusajja wa Katonda; ne Ezera omuwandiisi ng'abakulembedde:
37 ne bayita mu mulyango ogw'oluzzi n'okusimba mu maaso gaabwe ne balinnya ku lutindo olw'ekibuga kya Dawudi, bbugwe w'ayambukira waggulu w'ennyumba ya Dawudi okutuusa ku mulyango ogw'amazzi ebuvanjuba.
38 N'ekibiina eky'okubiri eky'abo abeebaza ne bagenda okubasisinkana, nange nga mbavaako ennyuma, wamu n'ekitundu ky'abantu ku bbugwe engulu w'ekigo eky'ebikoomi, okutuusa ku bbugwe omugazi;
39 era engulu w'omulyango gwa Efulayimu, n'awali omulyango omukadde, n'awali omulyango ogw'ebyennyanja, n'ekigo kya Kananeri, n'ekigo kya Kameya, okutuusa ku mulyango ogw'endiga: ne bayimirira buyimirizi mu mulyango ogw'abakuumi.
40 Awo ebibiina byombi eby'abo abeebaliza mu nnyumba ya Katonda ne biyimirira, nange n'ekitundu ky'abakulu wamu nange:
41 ne bakabona, Eriyakimu ne Maaseya ne Miniyamini ne Mikaaya ne Eriwenayi ne Zekkaliya ne Kananiya nga balina amakondeere;
42 ne Maaseya ne Semaaya ne Ereyazaali ne Uzzi ne Yekokanani ne Malukiya ne Eramu ne Ezera. Abayimbi ne bayimba n'eddoboozi ddene, Yezulakiya nga ye mukulu waabwe.
43 Ne bawaayo ssaddaaka enkulu ku lunaku olwo ne basanyuka; kubanga Katonda yali abasanyusizza essanyu lingi; era n'abakazi n'abaana abato ne basanyuka: awo essanyu ery'e Yerusaalemi n'okuwulirwa ne liwulirirwa wala.
44 Awo ku lunaku olwo ne balonda abantu okuba abakulu b'enju ez'amawanika olw'ebiweebwayo ebisitulibwa, olw'ebibala ebibereberye, n'olw'ebitundu eby'ekkumi, okuzikuŋŋaanyizaamu ng’ennimiro ez'oku bibuga bwe zaali, emigabo egyalagirwa bakabona n'Abaleevi mu mateeka: kubanga Yuda yasanyuka olwa bakabona n'Abaleevi abaaweereza.
45 Era baakwata ebisanja bya Katonda waabwe n'ebisanja eby’okulongoosa, era bwe batyo bwe baakola n'abayimbi n'abaggazi ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Sulemaani mutabani we.
46 Kubanga mu mirembe gya Dawudi ne Asafu edda waabangawo omukulu w'abayimbi, n'ennyimba ez'okutenderezanga n'okwebazanga Katonda.
47 Era Isiraeri yenna mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya ne bawa emigabo gy'abayimbi n'abaggazi ng'ebyagwaniranga buli lunaku bwe byali: ne batukulizanga Abaleevi; Abaleevi ne batukulizanga batabani ba Alooni.