Obufumbo n'Okwegatta
- Mukama Katonda n'aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n'amuggyamu olubiriizi lumu, n'azzaawo ennyama mu kifo kyalwo. Mukama Katonda n'azimba olubiriizi, lw'aggye mu muntu, okuba omukazi, n'amuleeta eri omuntu. Omuntu n'ayogera nti Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja. Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.- Olubereberye 2:21-24
- Adamu n'amanya Kaawa mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama. ...Adamu n'amanya nate mukazi we; n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta.- Olubereberye 4:1, 25
- Mukama n'abonyaabonya Falaawo n'ennyumba ye n'ebibonoobono ebikulu olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti Kino kiki ky'onkoze? kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo?- Olubereberye 12:17-18
- Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atamuzaalira baana: era yalina omuzaana, Omumisiri, erinnya lye Agali. Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Laba nno, Mukama anziyizza okuzaalanga; nkwegayiridde, yingira eri omuzaana wange, mpozzi ndifuna abaana mu ye. Ibulaamu n'awulira eddoboozi lya Salaayi. Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atwala Agali, Omumisiri, muzaana we, Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka ekkumi okutuula mu nsi ya Kanani, n'amuwa Ibulaamu musajja we okuba mukazi we.- Olubereberye 16:1-3
- N'ayogera nti Sirirema kukomawo w'oli ekiseera bwe kiridda; era, laba, Saala mukazi wo alizaala omwana ow'obulenzi. Saala n'awulira mu mulyango gw'eweema, eyali ennyuma we. Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye, era nga bayitiridde obukadde; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eri. Saala n'aseka munda ye, ng'ayogera nti Nga mmaze okukaddiwa ndisanyuka, era ne mukama wange ng'akaddiye?- Olubereberye 18:10-12
- Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yayingira eri omukazi wa muganda we, n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde. N'ekigambo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama: n'oyo n'amutta.- Olubereberye 38:9-10
- Toyendanga.- Okuva 20:14
- Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.- Okuva 20:17
- Tobikkulanga ku nsonyi za musika wa nnyoko: ze nsonyi za kitaawo. ... So tosulanga na muka muliraanwa wo, okweyonoona naye.- Ebyabaleevi 18:8, 20
- N'omuntu anaayendanga ku mukazi w'omusajja omulala, anaayendanga ku mukazi wa muliraanwa we, omwenzi omusajja n'omwenzi omukazi tebalemanga kuttibwa. ...Era omusajja bw'anaasulanga n'omusajja, nga bwe yandyebase n'abakazi, bombi nga bakoze eky'omuzizo: tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.- Ebyabaleevi 20:10, 13
- Tebawasanga mukazi mwenzi,oba aliko empitambi; so tebawasanga mukazi eyagobebwa bba: kubanga mutukuvu eri Katonda we.- Ebyabaleevi 21:7
- Era anaawasanga omukazi nga tannamanya musajja. Nnamwandu oba eyagobebwa oba aliko empitambi, omwenzi, abo tabawasanga: naye omuwala atamanyanga musajja ow'oku bantu be gw'anaawasanga.- Ebyabaleevi 21:13-14
- Eryo lye tteeka ery'obuggya, omukazi ng'afugibwa bbaawe bw'anaakyamanga n'ayonooneka: oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunajjiranga omusajja, n'akwatirwa mukazi we obuggya; awo anaateekanga omukazi mu maaso ga Mukama, ne kabona anaamukoleranga etteeka eryo lyonna:- Okubala 5:29-30
- Omusajja yenna bw'awasanga omukazi, n'ayingira gy'ali, n'amukyawa, n'amuwawaabira eby'ensonyi, n'amuleetako erinnya ebbi, n'ayogera nti Nawasa omukazi ono, kale bwe nnamusembesera, ne ssimulabako bubonero bwa butamanya musajja: awo kitaawe w'omukazi ne nayina ne balyoka baddira obubonero bw'omuwala oyo obw'obutamanya musajja ne babuleetera abakadde b'ekibuga mu mulyango: kitaawe w'omuwala n’agamba abakadde nti Omusajja ono namuwa mwana wange okumuwasa, naye amukyaye; era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti Saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno. Kale ne bayaliira ekyambalo mu maaso g'abakadde b'ekibuga.- Ekyamateeka 22:13-17
- Omusajja bw'atwalanga omukazi n'amuwasa, kale olunaatuukanga, bw'ataaganjenga n'akatono mu maaso ge, kubanga alabye ku ye ekitali kirungi, anaamuwandiikiranga ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze; n'amugoba mu nnyumba ye:- Ekyamateeka 24:1
- Dawudi n'akubagiza Basuseba mukazi we n'ayingira gy'ali n'asula naye: n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma erinnya lye Sulemaani. Mukama n'amwagala;- 2 Samwiri 12:24
- Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri n'ab'obuwala kkumi na mukaaga.- 2 Ebyomumirembe 13:21
- Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala mu nju ez'omunda mu nnyumba yo: Abaana bo ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo.- Zabbuli 128:3
- Ensulo yo ebeerenga n'omukisa; Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo. Ng'ennangaazi ekwagala n'empeewo ekusanyusa, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.- Engero 5:18-19
- Bw'atyo bw'abeera ayingira eri omukazi wa munne; Buli amukomako talirema kubonerezebwa.- Engero 6:29
- Ayenda ku mukazi talina kutegeera: Ayagala okuzikiriza obulamu bwe ye ye akola bw'atyo.- Engero 6:32
- Alaba omukazi okumufumbirwa alaba ekirungi, Era afuna okuganja eri Mukama.- Engero 18:22
- Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.- Engero 19:14
- Beeranga ku nnyumba waggulu awafunda Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.- Engero 21:9
- Beeranga n'omukazi gw'oyagala n'essanyu ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu bw'akuwadde wansi w'enjuba, ennaku zo zonna ezitaliimu: kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu, ne mu kutegana kwo kw'otegana wansi w'enjuba.- Omubuulizi 9:9
- Annywegere n'okunywegera kw'akamwa ke: Kubanga okwagala kwo kusinga omwenge obulungi.- Oluyimba lwa Sulemaani 1:2
- Omukono gwe ogwa kkono guli wansi w'omutwe gwange, N'omukono gwe ogwa ddyo gunkutte.- Oluyimba lwa Sulemaani 2:6
- Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo, Abaliira mu malanga. .... Osanyusizza omutima gwange mwannyinaze, mugole wange Osanyusizza omutima gwange n'eriiso lyo erimu, N'omukuufu ogumu ogw'omu bulago bwo. Okwagala kwo nga kulungi mwannyinaze, mugole wange Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge; N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi!- Oluyimba lwa Sulemaani 4:5, 9, 10
- Yimba, ggwe omugumba, atazaalanga; baguka okuyimba oyogerere waggulu, atalumwanga kuzaala: kubanga abaana b'oyo atalina bba bangi okusinga abaana b'omukazi eyafumbirwa, bw'ayogera Mukama.- Isaaya 54:1
- Komawo, mmwe abaana abadda ennyuma, bw'ayogera Mukama; kubanga nze bbammwe: era ndibatwala nga nziya omu ku kibuga n'ababiri ku kika, ne mbaleeta e Sayuuni:- Yeremiya 3:14
- bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga empitambi yo yafukirwa ddala, n'obwereere bwo ne bubikkulwako olw'obwenzi bwo bwe wayenda ku baganzi bo; era olw'ebifaananyi byonna eby'emizizo gyo n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa; kale, laba, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, n'abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa; okukuŋŋaanya ndibakuŋŋaanya okulwana naawe enjuyi zonna, era ndibabikkulira obwereere bwo, bonna balabe obwereere bwo.- Ezekyeri 16:36-37
- Mukama bwe yasooka okwogerera mu Koseya, Mukama n'agamba Koseya nti Genda owase omukazi ow'obwenzi n'abaana ab'obwenzi: kubanga ensi eyenda obwenzi obungi, ng'eva ku Mukama.- Koseya 1:2
- Muwoze ne nnyammwe, muwoze: kubanga si mukazi wange, so nange siri bba: era aggyewo obwenzi bwe okuva mu maaso ge, n'obukaba bwe okuva wakati w'amabeere ge;- Koseya 2:2
- Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba: naye nange mbagamba nti buli muntu agobanga mukazi we, wabula ogw'obwenzi ng'amwenzezza: n'oyo awasanga gwe baagoba, ng'ayenze.- Matayo 5:31-32
- n'agamba nti Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu? obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.- Matayo 19:5-6
- Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.- Matayo 19:29
- nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yagamba nti Omuntu bw'afanga, nga talina baana, muganda we addengawo awase mukazi we, azaalire muganda we ezzadde. ...Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu.- Matayo 22:24, 30
- Ne bagamba nti Musa yakkiriza okuwandiikanga ebbaluwa ey'okugoba; alyoke agobebwenga. Naye Yesu n'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe kyeyava abawandiikira etteeka lino. Naye okuva ku lubereberye lw'okutonda, yabatonda omusajja n'omukazi. Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu: kale nga tebakyali babiri nate, wabula omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.- Makko 10:4-9
- naye yennyini bw'anaanobanga ewa bba, n'afumbirwa omulala, ng'ayenze.- Makko 10:12
- Awo waaliwo Ana, nnabbi omukazi, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri (yali Yaakamala emyaka mingi, yabeera ne bba emyaka musanvu okuva mu buto bwe,- Lukka 2:36
- Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo kya ku mwanjo, mpozzi waleme okubaawo akusinga ekitiibwa gw'ayise,- Lukka 14:8
- Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna.- Lukka 17:27
- Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti Omukyala, bazze wa? tewali asaze kukusinga? Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri.- Yokaana 8:10-11
- Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba. Kale bwe kityo bba bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi: naye bba bw'afa, nga wa busa eri amateeka, obutaba mwenzi bw'aba n'omusajja omulala.- Abaruumi 7:2, 3
- N'okugamba bagamba nga mu mmwe mulimu obwenzi, era obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawaaga, omuntu okubeera ne mukazi wa kitaawe. Nammwe mwegulumizizza; so temwanakuwala bunakuwazi, oyo eyakola ekikolwa ekyo alyoke aggibwe wakati mu mmwe.- 1 Abakkolinso 5:1, 2
- Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.- 1 Abakkolinso 6:9-10
- Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya: naye Katonda alibiggyawo byombiriri. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri: era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.- 1 Abakkolinso 6:13, 14
- Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye: Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? nammwe temuli ku bwammwe; kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe.- 1 Abakkolinso 6:18-20
- Naye ku ebyo bye mwampandiikira; kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne musajja we ye.- 1 Abakkolinso 7:1, 2
- Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n'omukazi asasulenga bw'atyo omusajja. Omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we: era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we. Temumaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe.- 1 Abakkolinso 7:3-5
- Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze. Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbiriganwenga: kubanga kye kirungi okufumbiriganwanga okusinga okwakanga. Naye abaamala okufuumbirwaganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, omukazi obutanobanga ku musajja we (naye okunoba bw'anobanga, abeerenga awo obutafumbirwanga, oba atabaganenga ne musajja we); era n'omusajja obutalekangayo mukazi we.- 1 Abakkolinso 7:8-11
- Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na wa luganda: singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.- 1 Abakkolinso 7:14
- Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe: naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we. Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga musajja we.- 1 Abakkolinso 7:32-34
- Omukazi asibibwa musajja we ng'akyali mulamu; naye musajja we bw'aba nga yeebase, nga wa busa afumbirwenga gw'ayagala; kyokka mu Mukama waffe.- 1 Abakkolinso 7:39
- Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, empitambi, obukaba, okusinza ebifaananyi, okuloga; obulabe, okuyomba; obuggya; obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: nsooka okubabuulira ku ebyo, nga bye nnasooka okubabuulira, nti bali abakola ebiri ng'ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.- Abaggalatiya 5:19-21
- Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu- Abaefeeso 5:3
- Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, bw'ali omulokozi ow'omubiri yennyini. Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo. Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo; 26 alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo, alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu eteriiko bulema. Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka: kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa, agujjaajaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa; kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. Omuntu kyanaavaaga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu. Ekyama kino kikulu: naye njogera ku Kristo n'ekkanisa. Naye era nammwe buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n'omukazi atyenga bba.- Abaefeeso 5:22-33
- Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu omubi, n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi;- Abakkolosaayi 3:5
- Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi; buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa, si mu mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda;- 1 Abasessaloniika 4:3-5
- abenzi, abalya ebisiyaga, abanyazi b'abantu, abalimba, abalayirira obwereere, n'ebirala byonna ebiwakana n'okuyigiriza okw'obulamu;- 1 Timoseewo 1:10
- Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, ...Abaweereza babeereaga basajja ba mukazi omu, nga bafuga abaana baabwe obulungi n'ennyumba zaabwe bo.- 1 Timoseewo 3:2, 12
- omuntu bw'atabangako musango, ng'alina omukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu, so si abatagonda.- Titus 1:6
- Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.- Abaebbulaniya 13:4
- Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.- 1 Peetero 3:7
- Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi oli Yezeberi, eyeeyita nnabbi; n'ayigiriza n'akyamya abaddu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweebwa eri ebifaananyi.- Okubikkulirwa 2:20
- ne bateenenya mu bussi bwabwe, newakubadde mu bulogo bwabwe, newakubadde mu bwenzi bwabwe, newakubadde mu bubbi bwabwe.- Okubikkulirwa 9:21
- kubanga emisango gye gya mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n'obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be mu mukono gw'oyo.- Okubikkulirwa 19:2