Okulya Ensi

0:00
0:00

  • So ensi tetundibwanga okugiviiramu ddala ennaku zonna; kubanga ensi yange: kubanga muli bagenyi era abayise gye ndi.- Leviticus 25:23
  • Buli kifo ekinaalinnyibwangamu ekigere kyammwe kinaabanga kyammwe: okuva ku ddungu ne Lebanooni, okuva ku mugga; omugga Fulaati, okutuuka ku nnyanja ey'omu mabega we wanaabanga ensalo yammwe.- Ekyamateeka Deuteronomy 11:24
  • Era n'anfulumya n'andeeta mu kifo ekigazi: Yamponya kubanga yansanyukira.- 2 Samuel 22:20
  • Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, N'ensonda ez'ensi okubeera amatwale go.- Zabbuli Psalms 2:8
  • Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abawonya mu kweraliikira kwabwe.Era n'abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu, Batuuke mu kibuga eky'okutuulamu.- Zabbuli Psalms 107:6, 7
  • n'amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.- Isaaya Isaiah 30:21
  • Musabe muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo;- Matayo Matthew 7:7
  • Olw'okukkiriza Ibulayimu, bwe yayitibwa, n'awulira n'okugenda n'agenda mu kifo kye yali agenda okuweebwa okuba obusika; n'avaayo nga tamanyi gy'agenda.- Abaebbulaniya Hebrews 11:8
  • Era, laba, nze ndi wamu naawe, era naakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.- Olubereberye Genesis 28:15
  • Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye nnateekateeka.- Okuva Exodus 23:20
  • Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako: laba, malayika wange anaakukulemberanga: era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe.- Okuva Exodus 32:34
  • N'ayogera nti Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula.- Okuva Exodus 33:14
  • Onoobanga n'omukisa bw'onooyingiranga, era onoobanga n'omukisa bw'onoofulumanga:- Ekyamateeka Deuteronomy 28:6
  • Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu, Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala.Teyaganya muntu kuboonoona; Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe;Ng'ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange.- Zabbuli Psalms 105:13-15
  • Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abaggya mu kweraliikirira kwabwe. Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka. Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula; N'alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu.- Zabbuli Psalms 107:28-30
  • Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda, Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna.- Zabbuli Psalms 121:8
  • Bwe nnaatoola ebiwaawaatiro eby'enkya, Ne ntuula mu bifo eby'ennyanja ebiri ewala ennyo;Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, N'omukono gwo ogwa ddyo gunankwata.- Zabbuli Psalms 139:9, 10
  • ndikukulembera ne ntereeza ebifo ebitali bisende: ndimenyaamenya enzigi ez'ebikomo ne ntemaatema ebisiba eby'ebyuma:era ndikuwa obugagga obw'omu kizikiza n'ebintu ebyakwekebwa ebiri mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga ndi Mukama akuyita erinnya lyo, Katonda wa Isiraeri- Isaaya Isaiah 45:2, 3
  • kale yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga nabajjulula ne mbatwala wala mu mawanga, era kubanga mbasaasaanyizza mu nsi nnyingi era naye ndiba gye bali ekifo ekitukuvu ekiseera ekitono mu nsi gye batuuse.- Ezekyeri Ezekiel 11:16