Okuziyiza Setaani

0:00
0:00

 • N'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna.- Matayo Matthew 10:1
 • Ndikuwa ebisumuluzo by'obwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisu mululibwa mu ggulu.- Matayo Matthew 16:19
 • Naye n'akyuka, n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti Dda ennyuma wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.- Makko Mark 8:33
 • N'abayitira wamu abayigirizwa be ekkumi n'ababiri n'abawa amaanyi n'obuyinza ku badayimooni bonna n'okuwonya endwadde.- Lukka Luke 9:1
 • Awo abo ensanvu ne bakomawo n'essanyu nga bagamba nti Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo.- Lukka Luke 10:17
 • Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono- Lukka Luke 10:19
 • (kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo); nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemula buli kirowoozo okuwulira Kristo;- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 10:4, 5
 • so temuwanga bbanga Setaani.- Abaefeeso Ephesians 4:27
 • Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge. Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.- Abaefeeso Ephesians 6:10, 11
 • Mmwe muli ba Katonda, abaana abato, era mwabawangula: kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi.- 1 Yokaana 1John 4:4
 • Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya: oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng'ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi.- 1 Peetero 1 Peter 5:8, 9
 • akola ekibi wa Setaani; kubanga okuva ku lubereberye Setaani akola ebibi. Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani.- 1 Yokaana 1John 3:8