Obugwagwa
- Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna n'obutaba na butuukirivu obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu; kubanga ebya Katonda ebimanyika birabika eri bo: kubanga Katonda yabibalabisa.Kubanga bibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza:kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa.Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala,ne bawaanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu aggwaawo, n'eky'ebibuuka n'eky'ebirina amagulu ana n'eky'ebyewalula.Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka:kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe, Amiina.Katonda kyeyava abawaaye eri okukwatibwa okw'ensonyi: kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne balufuula ekitali kya buzaaliranwa:era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era nga baweebwanga mu bo bokka empeera eyo eyasaanira okwonoona kwabwe.Era nga bwe batakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaayo eri omwoyo ogutakkirizibwa, okukolanga ebitasaana; -
- mu bigambo by'empisa ez'olubereberye, mmwe okwambula omuntu ow'edda, avunda olw'okwegomba okw'obulimba;era okufuuka abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe,okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima.Abaefeeso Ephesians 4:22-24
- Era omusajja bw'anaasulanga n'omusajja, nga bwe yandyebase n'abakazi, bombi nga bakoze eky'omuzizo: tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. - Leviticus 20:13
- Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga,newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. Era abamu ku mmwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe. - 1 Abakkolinso 1 Corinthians 6:9-11
- Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu - Abaefeeso Ephesians 5:3
- Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango. Abaebbulaniya Hebrews 13:4