Ebigwana

0:00
0:00

  • Kale tubuulire, olowooza otya? Kirungi okuwa Kayisaali omusolo, oba si weewaawo? Naye Yesu n'ategeera obubi bwabwe, n'agamba nti Munkemera ki, mmwe bannanfuusi? Mundage effeeza ey'omusolo. Ne bamuleetera eddinaali.mN'abagamba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko by'ani? Ne bamugamba nti Bya Kayisaali. Awo n'abagamba nti Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.- Matayo Matthew 22:17-21
  • nga mulina empisa zammwe mu b'amawanga ennungi; nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw'okulabirwamu.Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waffe: oba kabaka nga ye asinga bonna;oba abaamasaza, nga ye b'atuma olw'okukangavvulanga abakola obubi, n'olw'okusiimanga abakola obulungi.- 1 Peetero 1 Peter 2:12-14
  • Yagalananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga oku kutwala eri katikkiro, so ne katikkiri alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera. Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukome kkereza n'eppeesa erimu.- Matayo Matthew 5:25-26
  • era mulitwalibwa eri abaamasaza n'eri bakabaka okubalanga nze, okuba obujulirwa eri bo n'ab'amawanga. Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaagamba tutya? nti Tunaayogera ki? kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera.- Matayo Matthew 10:18, 19
  • Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga: kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka.- Abaruumi Romans 13:8
  • Awo Piraato n'amugamba nti Toyogera nange? tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta, era nnina obuyinza obw'okukukomerera?Yesu n'amuddamu nti Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga.- Yokaana John 19:10, 11
  • Awo olwatuuka mu nnaku ezo etteeka ne liva eri Kayisaali Augusito ab'ensi zonna okuwandiikibwa.Okwo kwe kuwandiikibwa okwasooka okubaawo Kuleniyo bwe yali nga y'afuga Obusuuli.Bonna ne bagenda okwewandiika, buli muntu mu kibuga kyabo.Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'alinnya e Buyudaaya, okugenda mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu, kubatrga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi,yeewandiike ne Malyamu, gwe yali ayogereza, ng'ali lubuto.- Lukka Luke 2:1-5
  • Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng'effufugge eriri mu minzaani: laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo...Amawanga gonna gali nga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya.- Isaaya Isaiah 40:15, 17
  • Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baalagirwa Katonda. Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira hwa Katonda: era bawakana balyezzaako omusango bo bokka. Kubanga abafuga si ba kutiisa mu kikolwa ekirungi, wabula mu kibi: Era oyagala obutatya bukulu? kola bulungi, alikusiima: kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga tawatira kitala bwereere: kubanga ye nuweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubi. Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye lwa ku lw'omwoyo gwammwe. Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo.Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; ab'ekitiibwa kitiibwa.- Abaruumi Romans 13:1-7