Obukkakkamu

0:00
0:00

  • Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira gye ndi bonna.- Yokaana John 12:32
  • Kubanga Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaaba gwa Kristo; gulemenga okuba ogw'obwereere:- 1 Abakkolinso 1 Corinthians 1:17
  • naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ensonyi eby'amaanyi;n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo:omu biri gwonna gulemenga okwenyu miriza mu maaso ga Katonda.- 1 Abakkolinso 1 Corinthians 1:27-29
  • N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeeza kw'Omwoyo n'amaanyi:- 1 Abakkolinso 1 Corinthians 2:4