Ebikyamya

0:00
0:00

  • So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo; - Abaefeeso Ephesians 5:18
  • Kubanga kyawandiikibwa nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulyatula Katonda.Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.- Abaruumi Romans 14:11, 12
  • Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi. So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mumanye Katonda by’ayagala. - Abaruumi Romans 12:1, 2
  • Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga,newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.Era abamu ku mmwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe. - 1 Abakkolinso 1 Corinthians 6:9-11
  • Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna. - 1 Abakkolinso 1 Corinthians 6:12
  • Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. Kale ekibi kiremenga okufuga mu mubiri gwammwe ogufa, okuwuliranga okwegomba kwagwo: so temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda. - Abaruumi Romans 6:11-13
  • Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, muliba ba ddembe ddala. - Yokaana John8:36
  • Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; Era buli akyama olw'ebyo talina magezi. - Engero Proverbs 20:1
  • Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa.- Engero Proverbs 28:13
  • Bwe twogera nga tetulina kibi, twekyamya fekka so nga n'amazima tegali mu ffe.Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. - 1 John 1:8, 9
  • Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza,obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka. - Abaggalatiya Galatians 5:22, 23
  • Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza, - 1 Abakkolinso 1 Corinthians 10:13
  • kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe. - 1 Abakkolinso 1 Corinthians6:19
  • Tonywanga mazzi gokka, naye onywanga ne ku mwenge katono olw'olubuto lwo n'olw'okulwalalwala. - 1 Timothy 5:23
  • mulyoke mumale ebiro byammwe ebisigaddeyo nga mukyali mu mubiri, si Iwa kwegomba kwa bantu, naye olw'ebyo Katonda by'ayagala. Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab'amawanga bye baagala, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo: ebyo bye bibeewuunyisa kubanga temuddukira wamu nabo mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, nga babavuma: abaliwoza ensonga eri oyo eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu.Kubanga enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo. Naye enkomerero ya byonna eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba: - 1 Peetero 1 Peter 4:2-7