Amalala

0:00
0:00

  • Temwogeranga nate bya kyejo kingi ekyenkanidde awo; Eby'amalala tebivanga mu kamwa kammwe: Kubanga Mukama Katonda wa kumanya, N'oyo ye apima ebikolwa.- 1 Samwiri 1 Sam 2:3
  • Amalala lwe gajja, lwe wajja n'ensonyi: Naye amagezi gaba n'abeetoowaza. - Engero Proverbs 11:2
  • Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abateesa obulungi.- Engero Proverbs 13:10
  • Mukama alisimbula ennyumba ey'ab'amalala: Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu. - Engero Proverbs 15:25
  • Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.- Engero Proverbs 22:4
  • Amalala ag'omuntu galimutoowaza: Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa. - Engero Proverbs 29:23
  • Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa. 1 Abakkolinso 1 Corinthians 10:12
  • Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.- Yakobo James 4:10
  • Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa. - Lukka Luke 14:11
  • Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza,obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka. - Abaggalatiya Galatians 5:22, 23
  • temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka;temutunuuliranga buli muntu ebibye yekka, era naye buli muntu n'eby'abalala. Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; - Abafiripi Philippians2:3-5
  • Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, taliwona kubonerezebwa. - Engero Proverbs 16:5
  • Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo. Engero Proverbs 16:18
  • Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa. - Engero Proverbs 16:25
  • Okuzikiriza nga tekunnabaawo omutima gw'omuntu gwegulumiza, Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.- Engero Proverbs 18:12
  • Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. - Yakobo James 4:6
  • Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga mu musango: Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.- Zabbuli Psalms 25:9
  • Bwe mutyo, abavubuka, mugonderenga abakadde. Era mwenna mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka: kubanga Katonda aziyiza ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. Kale mwewombeekenga wansi w'omukono ogw'amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng'obudde butuuse; nga mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe. - 1 Peetero 1 Peter 5:5-7
  • Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mumugambe nti Eyeesiba ebyokulwanyisa bye aleme okwenyumiriza ng'oyo abyesumulula. - 1 Bassekabaka 1 vgvgKings 20:11
  • Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama: naye omwavu era alina omwoyo oguboneredde era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira. - Isaaya Isaiah 66:2