Obuvumu n’Okulumirizibwa
- Okutya abantu kuleeta ekyambika: Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.- Engero Proverbs 29:25
- Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, Katonda wammwe!- Isaaya Isaiah 40:9
- Mukama Katonda ampadde olulimi lw'abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n'ebigambo oyo akooye: azuukusa buli lukya; azuukusa okutu kwange okuwulira ng'abo abayigirizibwa.- Isaaya Isaiah 50:4
- Awo nze ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.- Yeremiya Jeremiah 1:7
- Nfudde ekyenyi kyo ng'alimasi okukaluba okusinga ejjinja ery'embaalebaale: tobatyanga, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu.- Ezekyeri Ezekiel 3:9
- Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kikubibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa. So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju.- Matayo Matthew 5:14, 15
- Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.- Matayo Matthew 5:16
- Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.- Makko Mark 8:38
- Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.- Ebikolwa Acts 1:8
- Awo bwe baalaba obugumu bwa Peetero ne Yokaana, ne babategeera okuba abantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo, ne beewuunya, ne babeetegereza nga baali wamu ne Yesu.- Ebikolwa Acts 4:13
- Naye Peetero n'abatume ne baddamu ne bagamba nti Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.- Ebikolwa Acts 5:29
- Kubanga enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda olw’okulokola eri buli akkiriza okusookera ku Muyudaaya era n'eri Omuyomaani.- Abaruumi Romans 1:16
- era nange ndyoke mpeebwe okwogeranga okwasamyanga akamwa kange, okutegeezanga n'obuvumu ekyama eky'enjiri, gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n'obuvumu mu yo, nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga.- Abaefeeso Ephesians 6:19, 20
- naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda okuteresebwa enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng'abaagala okusiimibwa abantu, wabula Katonda akema emitima gyaffe.- 1 Abasessaloniika 1 Thessalonians 2:4
- Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, newakubadde nze omusibe we: naye obonyaabonyezebwanga wamu n'enjiri ng'amaanyi ga Katonda bwe gali;- 2 Timoseewo 2 Timothy 1:8
- Yogeranga ebyo, obibuulirirenga, onenyenga n'obuyinza bwonna, Omuntu yenna takunyoomanga.- Tito Titus 2:15
- nga mulina empisa zammwe mu b'amawanga ennungi; nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw'okulabirwamu.- 1 Peetero 1 Peter 2:12