Amagezi

0:00
0:00

  • Ontwale, ai Mukama, mu butuukirivu bwo olw'abalabe bange; Ongololere ekkubo lyo mu maaso gange. Zabbuli Psalms 5:8
  • Ondage: amakubo go, si Mukama; Onjigirize empenda zo.Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize; Kubanga ggwe oli Katonda ow'obulokozi bwange; Ggwe gwe nnindirira obudde okuziba.
    Zabbuli Psalms 25:4, 5
  • Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga mu musango: Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.- Zabbuli Psalms 25:9
  • Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu luwenda olulabika, Olw'abalabe bange.- Zabbuli Psalms 27:11
  • Naakuyigirizanga naakulanganga mu kkubo ly'onooyitangamu: Naakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.- Zabbuli Psalms 32:8
  • Olugendo olw'omuntu lunywezebwa Mukama; Era asanyukira ekkubo lye.- Zabbuli Psalms 37:23
  • Ononnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.- Zabbuli Psalms 73:24
  • Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go.- Zabbuli Psalms 119:18
  • Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange.- Zabbuli Psalms 119:105
  • Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi.- Zabbuli Psalms 119:130
  • Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe: Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.- Zabbuli Psalms 143:8
  • Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe:Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.- Engero Proverbs 3:5, 6
  • Bw'onootambulanga, linaakukulemberanga; Bw'oneebakanga, linaakukuumanga: Era bw'onoozuukukanga, linaayogeranga naawe.- Engero Proverbs 6:22
  • n'amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.- Isaaya Isaiah 30:21
  • Era ndireeta abazibe b'amaaso mu kkubo lye batamanyi; mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa: ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe, n'ebifo ebikyamu ndibigolola. Ebyo ndibikola so siribaleka.- Isaaya Isaiah 42:16
  • Mukama Katonda ampadde olulimi lw'abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n'ebigambo oyo akooye: azuukusa buli lukya; azuukusa okutu kwange okuwulira ng'abo abayigirizibwa.- Isaaya Isaiah 50:4
  • era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n'akkusa obulamu bwo mu bifo ebikalu n'anyweza amagumba go; naawe onoobanga ng'olusuku olufukirirwa amazzi era ng'oluzzi lw'amazzi olutaggwaamu mazzi.- Isaaya Isaiah 58:11
  • Ai Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.- Yeremiya Jeremiah 10:23
  • Balijja nga bakaaba amaziga, era ndibaleeta nga beegayirira: ndibatambuza ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittala: kubanga ndi kitaawe eri Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange.- Yeremiya Jeremiah 31:9
  • (kubanga tutambula olw'okukkiriza, si lwa kulaba);- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 5:7
  • Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiitiriza okw'omu mutima.- Abaebbulaniya Hebrews 4:12
  • Weewaawo, bw'onookaabiranga okumanya, N'oliriranga okutegeera.Bw'onooganoonyanga nga ffeeza, N'ogakenneenyanga ng'eby'obugagga ebyakwekebwa;Kale lw'olitegeera okutya Mukama, N'ovumbula okumanya Katonda.Kubanga Mukama awa amagezi; Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n'okutegeera:- Engero Proverbs 2:3, 5, 6
  • Okutegeka omutima kugwanira muntu: Naye okwanukula kw'olulimi kuva eri Mukama.- Engero Proverbs 16:1
  • Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna.- Engero Proverbs 28:5
  • n'omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo ogw'amagezi n'okutegeera, omwoyo ogw'okuteesa n'amaanyi, omwoyo ogw'okumanya n'okutya Mukama; n'okutya Mukama kw'alisanyukira: so taasalenga misango ng'okulaba kw'amaaso ge bwe kunaabanga, so taanenyenga ng'okuwulira kw'amatu ge bwe kunaabanga:- Isaaya Isaiah 11:2, 3
  • Naye abavubuka abo abana, Katonda n'abawa okumanya n'okutegeera mu kuyiga kwonna n'amagezi: Danyeri n'aba omukabakaba mu kwolesebwa kwonna ne mu birooto.- Daniel 1:17
  • Naye oba ng'omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa.- Yakobo James 1:5
  • Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe: Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.- Zabbuli Psalms 143:8
  • Onjigirize okukolanga by'oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange: Omwoyo gwo mulungi; onnuŋŋamize mu nsi ey'obutuukirivu. Onzuukize, ai Mukama, olw'erinnya lyo: Mu butuukirivu bwo oggyemu emmeeme yange mu nnaku.- Zabbuli Psalms 143:10, 11
  • Ekkubo ery'omusirusiru ddungi mu maaso ge ye: Naye ow'amagezi awulira okuweererwa ebigambo.- Engero Proverbs 12:15
  • Awatali magezi okuteesa kufa: Naye kunywerera mu lufulube lw'abo abateesa ebigambo.- Engero Proverbs 15:22
  • Wuliranga okuteesa, okkirizenga okuyigirizibwa, Obeere n'amagezi enkomerero yo ng'etuuse.- Engero Proverbs 19:20
  • Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era tabaalanga n'okukulemberwa okw'amagezi.- Engero Proverbs 20:18
  • Kubanga olirwana olutalo lwo n'okuteesa okw'amagezi: Era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.- Engero Proverbs 24:6
  • Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw'ensonga.- Yokaana John 7:24
  • Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n'ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi.- Yakobo James 3:17
  • Kaakano njija gye muli omulundi ogw'okusatu. Mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera.- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 13:1