Ebiseera Ebizibu

0:00
0:00

  • Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu1Bassekabaka 1 Kings 17:16
  • Mu njala anaakununulanga obutafa; Ne mu ntalo anaakuwonyanga mu maanyi g'ekitala.- Yobu Job 5:20
  • Era Mukama anaabeeranga kigo ekiwanvu eri abayigganyizibwa, Ekigo ekiwanvu mu biro eby'ennaku;N'abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; Kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya.- Zabbuli Psalms 9:9, 10
  • Mukama amanyi ennaku z'abo abatuukiridde: N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna.Tebaakwatibwenga nsonyi mu biro eby'akabi: Ne mu nnaku ez'enjala banakkutanga.- Zabbuli Psalms 37:18, 19
  • Nali muto, kaakano nkaddiye; Naye , sirabanga mutuukirivu ng'alekeddwa, Newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.- Zabbuli Psalms 37:25
  • Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku. Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga, N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja;Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga, N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo. (Seera)- Zabbuli Psalms 46:1-3
  • Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mufuke omutima gwammwe mu maaso ge:- Zabbuli Psalms 62:8
  • Naayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.- Zabbuli Psalms 91:2
  • N'ayanjuluza ekire okubabikkangako; N'omuliro gubaakirenga ekiro.Ne basaba, n'aleeta obugubi, N'abakkusa emmere ey'omu ggulu.N'ayasa ejjinja, amazzi ne gatiiriika; Ne gakulukuta mu bifo ebikalu.- Zabbuli Psalms 105:39-41
  • Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumildwa ennyonta n'emigga ku ttaka ekkalu: ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n'omukisa gwange ku nda yo:- Isaaya Isaiah 44:3
  • Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'omu ttale, oguliwo leero, ne jjo bagusuula mu kyoto, talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?Kale temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? oba tulinywa ki? oba tulyambala ki?- Matayo Matthew 6:30, 31
  • Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala?Nga bwe kyawandiikibwa nti Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala.Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi,newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.- Abaruumi Romans 8:35-39
  • tutaayizibwa eruuyi n'eruuyi, naye tetunyigirizibwa; tweraliikirira, so si kweraliikiririra ddala:tuyiggayizibwa, naye tetulekebwa; tumegebwa, naye tetuzikirira;- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 4:8, 9
  • N'omukazi n'adduka n'atuuka mu ddungu, gye yalina ekifo ekyateekebwateekebwa Katonda, balyoke bamuliisizenga eyo ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu nkaaga.- Okubikkulirwa Revelation 12:6
  • Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu; Ekire ne kitayulika wansi we. 
    Aziba obwenyi bw'entebe ye, N'agyaliirako ekire kye. Yassaawo embibi ku maaso g'amazzi, Okutuusa omusana n'ekizikiza we bikoma.- Yobu Job 26:8-10
  • Ggwe ofuga amalala g'ennyanja: Amayengo gaayo bwe gagolokoka, ogateesa.- Zabbuli Psalms 89:9
  • Okusinga amaloboozi ag'amazzi amangi, Amayengo amanene ag'oku nnyanja, Mukama ali waggulu asinza amaanyi.- Zabbuli Psalms 93:4
  • Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka.- Zabbuli Psalms 107:29
  • Era walibaawo eweema okuba ekisiikirize emisana eri olubugumu, n'okuba ekiddukiro era omwekwekebwa.- Isaaya Isaiah 4:6
  • Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina kintu ng'alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa bwe kuba nga kibuyaga akunta ku kisenge. Ng'olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw'olikkakkanya bw'otyo oluyoogaano- Isaaya Isaiah 25:4
  • Bw'onooyitanga mu mazzi, naabeeranga naawe; ne mu migga, tegirikusaanyaawo: bw'onootambulanga okuyita mu muliro, toosiriirenga; so n'omuliro tegulyakira ku ggwe.- Isaaya Isaiah 43:2
  • Mukama mulungi, kigo ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; era amanyi abo abamwesiga.- Nakumu Nahum 1:7
  • N'abagamba nti Kiki ekibatiisa, abalina okukkiriza okutono? N'alyoka agolokoka, n'akoma ku mpewo ey'ennyanja; n'eteeka nnyo. Abantu ne beewuunya, nga bagamba nti Muntu ki ono, empewo n'ennyanja okumuwulira?- Matayo Matthew 8:26, 27
  • Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono- Lukka Luke 10:19