Okwesigama ku Mukama


  • Musa n'abagamba abantu nti Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero : kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna. 
    Mukama anaabalwanirira, nammwe munaasirika.- Okuva Exodus 14:13, 14
  • Bw'otabaalanga okulwana n'abalabe bo, n'olaba embalaasi n'amagaali n’abantu abakusinga obungi, tobatyanga: kubanga Mukama Katonda wo ali wamu naawe, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.- Ekyamateeka Deuteronomy 20:1
  • Mukama ye wuuyo abakulembera; anaabeeranga naawe, taakulekenga so taakwabulirenga: totya so totekemuka.- Ekyamateeka Deuteronomy 31:8
  • Munnammwe omu anaagobanga lukumi: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira, nga bwe yabagamba.- Joshua 23:10
  • Alikuuma ebigere by'abatukuvu be, Naye ababi balisirisibwa mu kizikiza Kubanga tewaliba muntu alisinga olw'amaanyi.- 1 Samwiri 1 Samuel 2:9
  • Awo Yonasaani n'agamba omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'abatali bakomole bano: mpozzi Mukama anaatukolera omulimu: kubanga Mukama tewali kimuziyiza okulokola n'abangi oba n'abatono.- 1 Samwiri 1 Samuel 14:6
  • era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu: kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe.- 1 Samwiri 1 Samuel 17:47
  • Mube n'amaanyi mugume emyoyo, temutya so temukennentererwa olwa kabaka w’e Bwasuli newakubadde eggye lyonna eriri naye: kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye: wamu naye waliwo omukono ogw'omubiri; naye wamu naffe waliwo Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe. Abantu ne banywerera ku bigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.- 2 Ebyomumirembe 2 Chronicles 32:7, 8
  • Olugendo lwange lwanywera mu makubo go, Ebigere byange tebiseereranga.- Zabbuli Psalms 17:5
  • Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange: Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa.- Zabbuli Psalms 26:1
  • Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.- Zabbuli Psalms 60:11
  • Emmeeme yange, lindirira Katonda yekka; Kubanga oyo okusubira kwange mwe kuva.- Zabbuli Psalms 62:5
  • Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe; Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe...Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi, Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.- Zabbuli Psalms 84:5, 7
  • Taatyenga bigambo bya bubi: Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.Omutima gwe gutereera, taatyenga, Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be.- Zabbuli Psalms 112:7, 8
  • Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abantu.- Zabbuli Psalms 118:8
  • Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe: Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.- Zabbuli Psalms 143:8
  • Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.- Engero Proverbs 3:5, 6
  • Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe: mmwe ne mutayagala.- Isaaya Isaiah 30:15
  • N'addamu n'aŋŋamba nti Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi nga kyogera nti Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw'ayogera Mukama w'eggye.- Zechariah 4:6
  • Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola.- Yokaana John 15:5
  • Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe.- 1 Yokaana 1John 5:4