Okuwummula
- Naagalamira ne nneebaka; Ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma. - Zabbuli Psalms 3:5
- Obulokozi buli eri Mukama: Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera) - Zabbuli Psalms 4:8
- Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akagenda emisana - Zabbuli Psalms 91:5
- Mukolera bwereere bwe mukeera okugolokoka, era bwe mulwawo ennyo okwebaka; Era bwe mulya emmere ey'okutegana: Kubanga bw'abawa bw'atyo otulo abaagalwa be. - Zabbuli Psalms 127:2
- Bw'onoogalamiranga tootyenga: Weewaawo, onoogalamiranga n'otulo two tunaakuwoomeranga. - Engero Proverbs 3:24
- Otulo otw'omukozi w'emirimu tumuwoomera, oba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw'omugagga tegumuganya kwebaka. - Omubuulizi Ecclesiastes 5:12
- Ayingira mu mirembe; bawummulira ku bitanda byabwe, buli muntu atambulira mu bugolokofu bwe. - Isaaya Isaiah 57:2
- Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isiraeri okuwummula, nga byonna bwe biri bye yasuubiza; tewali kigambo na kimu kibuze ku birungi bye yasuubiza n'omukono gwa Musa omuddu we. - 1 Bassekabaka 1 Kings 8:56
- Naawe onoobanga mirembe, kubanga essuubi weeriri; Weewaawo, onoomagamaganga n'owummula mirembe. - Yobu Job 11:18
- Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku ssabbiiti obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu; ssabbiiti n'ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa; n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe: kale n'olyoka osanyukira Mukama; nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi; era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. - Isaaya Isaiah 58:13:14
- Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda. - 1 Abakkolinso 1 Corinthians 10:31
- Kale wasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda. Kubanga ayingidde mu kiwummulo kye, era naye ng'awummudde mu mirimu gye, nga Katonda bwe yawummula mu gigye. - Abaebbulaniya Hebrews 4:9, 10