Emirembe

0:00
0:00

  • Naye ggwe oligenda awali bajjajja bo n'emirembe; oliziikibwa bw'olimala okuwangaala obulungi. - Olubereberye 15:15
  • Mukama aliwa amaanyi abantu be; Mukama omukisa gw'aliwa abantu be gye mirembe. - Zabbuli 29:11
  • Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga. - Zabbuli 34:14
  • Naye abawombeefu balisikira ensi: Era banaasanyukiranga emirembe emingi. - Zabbuli 37:11
  • Weekalirizenga oyo atuukiridde, olabenga ow'amazima: Kubanga enkomerero ey'omuntu oyo mirembe. - Zabbuli 37:37
  • Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza. - Zabbuli 119:165
  • Nze njagala emirembe: Naye bwe njogera, baagala okulwana. - Zabbuli 120:7
  • Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama, Atabaganya naye era n'abalabe be. - Engero 16:7
  • ekiseera eky'okwagaliramu, n'ekiseera eky'okukyayiramu; ekiseera eky'okulwaniramu, n'ekiseera eky'okutabaganiramu. - Omubuulizi 3:8
  • Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi aweereddwa ffe; n'okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n'erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow'emirembe. - Isaaya 9:6
  • Onoomukuumanga mirembe mirembe, eyeesigamya omwoyo gwe ku ggwe: kubanga akwesiga ggwe. - Isaaya 26:3
  • N'omulimu gw'obutuukirivu guliba mirembe; era obutuukirivu bulireeta okutereera n'okwesiganga ennaku zonna. - Isaaya 32:17
  • N'abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n'emirembe gy'abaana bo giriba mingi. - Isaaya 54:13
  • Kubanga mulifuluma n'essanyu, mulitwalibwa n'emirembe okuvaayo: ensozi n'obusozi ziribaguka okuyinba mu maaso gammwe, n'emiti gyonna egy'oku ttale girikuba mu ngalo. - Isaaya 55:12
  • Tewali mirembe, bw'ayogera Katonda wange, eri ababi. - Isaaya 57:21
  • Ekkubo ery'emirembe tebalimanyi; so mu magenda gaabwe temuli musango: beekubidde amakubo amakyamu; buli atambulira omwo tamanyi mirembe. - Isaaya 59:8
  • Era bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti Mirembe, mirembe; so emirembe nga tewali. - Yeremiya 6:14
  • Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw'ayogera Mukama, ebirowoozo eby'emirembe so si bya bubi, okubawa okusuubira enkomerero yammwe ey'oluvannyuma. - Yeremiya 29:11
  • Laba, ndikireetera obulamu n'okuwonyezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira emirembe n'amazima bingi nnyo nnyini. -
  • Okuzikirira kujja; era balinoonya emirembe, kale nga tewali. - Ezekyeri 7:25
  • be bannabbi ba Isiraeri abalagula ebya Yerusaalemi era abakirabira okwolesebwa okw'emirembe, so nga tewali mirembe, bw'ayogera Mukama Katonda. - Ezekyeri 13:16
  • Era olw'amagezi ge alyeza enkwe mu mukono gwe: era alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nga mirembe: era aliyimirira okulwanyisa omulangira w'abalangira: naye alimenyeka awatali ngalo. - Danyeri 8:25
  • Mu biro eby'emirembe alijjira n'ebifo ebisinga obugimu eby'omu ssaza: era alikola bajjajjaabe bye bataakolanga, newakubadde bajjajja ba bajjajjaabe: alibagabira omwandu n'omunyago n'obugagga: weewaawo, alisalira enkwe ze ebigo, okumala ekiseera. - Danyeri 11:24
  • Laba, ku nsozi ebigere by'oyo abuulirira ebigambo ebirungi, alangira emirembe! Weekuuma embaga zo, ggwe Yuda, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga omubi takyayitanga wakati wo; azikirira ddala. - Nakumu 1:15
  • Endagaano yange yabanga naye ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange. - Malaki 2:5
  • Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda. - Matayo 5:9
  • Enju bw'esaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku yo: naye bw'etasaananga, emirembe gyammwe giddenga gye muli. - Matayo 10:13
  • Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi: sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. - Matayo 10:34
  • N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti Sirika, teeka. Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo. - Makko 4:39
  • N'amugamba nti Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; weegendere n'emirembe, owonere ddala ekibonoobono kyo. - Makko 5:34
  • Omunnyo mulungi: naye omunnyo bwe guggwaamu ensa mulizzaamu ki? Mmwe mubeere n'omunnyo munda wammwe, mutabagane mwekka na mwekka. - Makko 9:50
  • Okwakira abatuula mu nzikiza, ne mu kisiikirize ky'olumbe, Okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe. - Lukka 1:79
  • Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; Ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa. - Lukka 2:14
  • N'agamba omukazi nti Okukkiriza kwo kukulokodde; genda mirembe. - Lukka 7:50
  • Na buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga okugamba nti Emirembe gibe mu nnyumba muno. - Lukka 10:5
  • Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyaali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana. - Lukka 14:32
  • nga bagamba nti Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe mu ggulu, n'ekitiibwa waggulu ennyo. - Lukka 19:38
  • Awo baali nga bakyayogera ebyo, ye yennyini n'ayimirira wakati waabwe, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe. - Lukka 24:36
  • Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga. - Yokaana 14:27
  • Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi. - Yokaana 16:33
  • eri bonna abali mu Ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu: ekisa kibe nammwe n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. - Abaruumi 1:7
  • Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe; So tebamanyanga kkubo lya mirembe: Tewali kutya Katonda mu maaso gaabwe. - Abaruumi 3:16-18
  • Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tubeerenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, - Abaruumi 5:1
  • Kubanga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'omwoyo bwe bulamu n'emirembe:Abaruumi 8:6
  • era balibuulira batya nga tebatumiddwa? nga bwe kyawandiikibwa nti Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira enjiri ey'ebirungi! - Abaruumi 10:15
  • Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna. - Abaruumi 12:18
  • kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu: - Abaruumi 14:17
  • Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka. - Abaruumi 14:19
  • Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n’emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu. - Abaruumi 15:13
  • Era Katonda ow'emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina. - Abaruumi 15:33
  • ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo. - 1 Abakkolinso 1:3
  • Naye atakkiriza bw'ayawukananga, ayawukane: ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo: naye Katonda yatuyitira mirembe. - 1 Abakkolinso 7:15
  • kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe; nga mu kkanisa zonna ez'abatukuvu. - 1 Abakkolinso 14:33
  • Eky'enkomerero, ab'oluganda, mweraba. Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubeere n'emirembe: ne Katonda ow'okwagala n'emirembe anaabanga nammwe. - 2 Abakkolinso 13:11
  • ekisa kibenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, - Abaggalatiya 1:3
  • N'abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibenga ku bo, n'okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda. - Abaggalatiya 6:16
  • Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, - Abaggalatiya 5:22
  • Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula, bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, tawuleti ey'ebiragiro ebiri mu mateeka; alyoke atonde mu ye yennyini abo bombi okubeera omuntu omu omuggya, okuleeta emirembe; - Abaefeeso 2:14, 15
  • nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe. - Abaefeeso 4:3
  • era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe; - Abaefeeso 6:15
  • Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe. - Abafiripi 4:9
  • n'okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe; mu ye okutabaganyisa oba eby'oku nsi oba eby'omu ggulu. - Abakkolosaayi 1:20
  • Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza. - Abakkolosaayi 3:15
  • Naye mmwe, ab'oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi: - 1 Abasessaloniika 5:4

  • Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe awamu n'abo abamusaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu. - 2 Timoseewo 2:22
  • Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n'obutukuvu, awatali obwo siwali aliraba Mukama: - Abaebbulaniya 12:14
  • Naye Katonda ow'emirembe, eyakomyawo okuva mu bafu omusumba w'endiga omukulu olw'omusaayi ogw'endagaano ey'olubeerera, ye Mukama waffe Yesu, - Abaebbulaniya 13:20
  • Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe. - Yakobo 3:18
  • Era yeewalenga obubi, akolenga obulungi; Anoonyenga emirembe, agigobererenga. - 1 Peetero 3:11
  • N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu: era oyo eyali atuddeko n'aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi, era battiŋŋane bokka na bokka: n'aweebwa ekitala ekinene. - Okubikkulirwa 6:4