Okuba olubuto n’Okuzaala


  • Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera nnyo, ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo; ensi n'ejjula abo.- Okuva Exodus 1:7
  • era anaakwagalanga anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: era anaawanga omukisa . ebibala by'omubiri gwo n'ebibala by'ettaka lyo, eŋŋaano yo envinnyo yo n'amafuta go, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo, mu nsi gye yalayirira bajjajja bo okukuwa. Onoobanga n'omukisa okusinga amawanga gonna: tewaabenga mugumba mu mmwe newakubadde omusajja newakubadde omukazi, newakubadde mu bisibo byo.- Ekyamateeka Deuteronomy 7:13, 14
  • Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye? Eyatubumba mu lubuto fembi si omu?- Yobu Job 31:15
  • Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi: Ezzadde ly'abatuukirivu linaabanga n'omukisa.- Zabbuli Psalms 112:2
  • Atuuza mu nju omukazi omugumba, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mumutendereze Mukama.- Zabbuli Psalms 113:9
  • Laba, abaana bwe busika bwa Mukama: N'ebibala eby'olubuto ye mpeera ye.- Zabbuli Psalms 127:3
  • Kubanga ggwe olina omwoyo gwange: Wambikkako mu lubuto lwa mmange.- Zabbuli Psalms 139:13
  • Kubanga anywezezza ebisiba by'enzigi zo; Awadde omukisa abaana bo munda yo.- Zabbuli Psalms 147:13
  • Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.- Isaaya Isaiah 40:11
  • Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumildwa ennyonta n'emigga ku ttaka ekkalu: ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n'omukisa gwange ku nda yo: era baliroka mu muddo ng'enzingu ku mabbali g'emigga.- Isaaya Isaiah 44:3, 4
  • Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nakutukuza; nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga.- Yeremiya Jeremiah 1:5
  • Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga birituukirizibwa ebyo bye wagambibwa Mukama.- Lukka Luke 1:45
  • Olw'okukkiriza era ne Saala yennyini n'aweebwa amaanyi okuba olubuto newakubadde nga yali ayitiridde mu myaka, kubanga oyo eyasuubiza yamulowooza nga mwesigwa:- Abaebbulaniya Hebrews 11:11
  • Era n'anfulumya mu kifo ekigazi; Yamponya, kubanga yansanyukira.- Zabbuli Psalms 18:19
  • Ontegere okutu kwo; yanguya okundokola: Obeerenga gye ndi olwazi olw'amaanyi, ennyumba enkomere okumponya,- Zabbuli Psalms 31:2
  • Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola.- Zabbuli Psalms 34:7
  • Kkiriza, ai Mukama, okumponya: Yanguwa okunnyamba, ai Mukama.- Zabbuli Psalms 40:13
  • Naye nze ndi mwavu, neetaaga; Mukama andowooza: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Tolwawo, ai Katonda wange.- Zabbuli Psalms 40:17
  • Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze!- Zabbuli Psalms 50:15
  • Nga nnyima ku nkomerero z'ensi naakukoowoolanga; omutima gwange bwe gunaazirikanga: Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu.- Zabbuli Psalms 61:2
  • Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange.- Zabbuli Psalms 91:14
  • Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, omuntu omubi taliwona kubonerezebwa: Naye ezzadde ery'abatuukirivu liriwonyezebwa.- Engero Proverbs 11:21
  • Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. Abavubuka nabo balizirika balikoowa, n'abalenzi baligwira ddala:naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.- Isaaya Isaiah 40:29-31
  • Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n’enda yaabwe wamu nabo.- Isaaya Isaiah 65:23
  • Yali nga tannalumwa n'azaala; obubalagaze bwe bwali nga tebunnatuuka n'azaala omwana wa bulenzi...9 Ndituusa okuzaalwa ne ssizaaza? bw'ayogera Mukama: nze azaaza ndiggala olubuto? bw'ayogera Katonda wo.- Isaaya Isaiah 66:7, 9
  • Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.- Yokaana John 16:21
  • Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.- 1 Abakkolinso 1 Corinthians 10:13
  • N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 12:9
  • Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula, nga tetuzirise.- Abaggalatiya Galatians 6:9

  • Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.- Abafiripi Philippians 4:13
  • naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiriranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza.- 1 Timoseewo 1 Timothy 2:15