Okujjamu embuto

0:00
0:00

  • Tottanga - Ekyamateeka Deuteronomy 5:17
  • Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa.- Psalm 139:16
  • Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n'omukazi bwe yabatonda. - Olubereberye Genesis 1:27
  • Laba, abaana bwe busika bwa Mukama: N'ebibala eby'olubuto ye mpeera ye. - Zabbuli Psalms 127:3
  • Kubanga ggwe olina omwoyo gwange: Wambikkako mu lubuto lwa mmange. Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: Emirimu gyo gya kitalo; N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi. - Zabbuli Psalms 139:13-15
  • Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye? Eyatubumba mu lubuto fembi si omu? - Yobu Job 31:15
  • Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nakutukuza; nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga. - Yeremiya Jeremiah 1:5