Empisa

0:00
0:00

  • Kubanga Mukama gw'ayagala gw'anenya; Era nga kitaawe omwana we gw'asanyukira. - Engero Proverbs 3:12
  • Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.- Engero Proverbs 13:24
  • . Kangavvulanga omwana wo, kubanga essuubi weeriri; So teweegomba kuzikirira kwe.- Engero Proverbs 19:18
  • Obusirusiru busibibwa mu mutima gw'omwana omuto; Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy'ali.- Engero Proverbs 22:15
  • Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga bw'onoomukubanga n'omuggo, talifa.- Engero Proverbs 23:13
  • Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo.- Abakkolosaayi Colossians 3:21
  • afuga obulungi ennyumba ye ye, agonza abaana be mu kitiibwa kyonna;- 1 Timoseewo 1 Timothy 3:4
  • era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, ekyogera nammwe ng'abaana nti Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, So toddiriranga bw'akunenyanga;Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw'akkiriza. Olw'okukangavvulwa kyemunaavanga mugumiikiriza; Katonda abakola ng'abaana; kuba mwana ki kitaawe gw'atakangavvula? Naye bwe munaabeeranga awatali kukangawulwa, okugwana okututuukako fenna, muli beebolereze, so si baana. Nate twalina bakitaffe ab'omubiri gwaffe abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa: tetulisinga nnyo okugonderanga Kitaawe w'emyoyo, ne tuba abalamu?- Abaebbulaniya Hebrews 12:5-9
  • Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri.- Zabbuli Psalms 119:9
  • Mukama alituukiriza ebigambo ebinfaako: Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.- Zabbuli Psalms 138:8
  • Batabani baffe bwe baliba ng'emiti egikuze nga bakyali bavubuka; N'abawala baffe ng'amayinja ag'omu nsonda agabajjibwa nga bwe bagabajjira mu lubiri;- Zabbuli Psalms 144:12
  • Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange;- Engero Proverbs 3:1
  • Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata amakubo gange.Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n’amagezi, So temugagaananga.- Engero Proverbs 8:32-33
  • Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.- Engero Proverbs 22:6
  • N'abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n'emirembe gy'abaana bo giriba mingi.- Isaaya Isaiah 54:13
  • Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Liisanga abaana b'endiga bange.- Yokaana John 21:15
  • Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe, awamu n'abo abamusaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu:- 2 Timoseewo 2 Timothy 2:22
  • Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima.- 3 Yokaana 3John 1:4
  • Kwata owulirenga ebigambo ebyo byonna bye nkulagira; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo emirembe gyonna, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekirungi era eky'ensonga;- Ekyamateeka Deuteronomy 12:28
  • n'abagamba nti Muteeke omutima gwammwe ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliragira abaana bammwe, okukwata ebigambo byonna eby'amateeka ago okubikolanga. Kubanga si kigambo ekitaliimu gye muli; kubanga bwe bulamu bwammwe, era olw'ekigambo ekyo kyemunaavanga muwangaala ennaku zammwe ku nsi gye musomokera Yoludaani okugirya.- Ekyamateeka Deuteronomy 32:46, 47
  • Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe, Abaana be abaddawo balina omukisa.- Engero Proverbs 20:7
  • Ne ntunula ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu n'abakulu, n'abantu abalala nti Temubatya: mujjukire Mukama omukulu ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe.- Nekkemiya Nehemiah 4:14
  • Nammwe, bakitaabwe, temusuaguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.- Abaefeeso Ephesians 6:4
  • Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala.- 2 Timoseewo 2 Timothy 2:2