1 Peetero
Essuula 4
Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezebwa mubiri, nammwe mwambalenga ebyokulwanyisa gwe mwoyo ogwo; kubanga abonyaabonyezebwa omubiri ng'amaze okuleka ebibi;
2 mulyoke mumale ebiro byammwe ebisigaddeyo nga mukyali mu mubiri, si lwa kwegomba kwa bantu, naye olw'ebyo Katonda by'ayagala.
3 Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab'amawanga bye baagala, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo:
4 ebyo bye bibeewuunyisa kubanga temuddukira wamu nabo mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, nga babavuma:
5 abaliwoza ensonga eri oyo eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu.
6 Kubanga enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo.
7 Naye enkomerero ya byonna eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba:
8 okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi:
9 nga musembezaganyanga awatali kwemulugunya:
10 nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, nga mukiweereza mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu;
11 omuntu yenna bw'ayogeranga, ayogerenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaanyi Katonda g'amuwa bwe gali: mu byonna Katonda agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
12 Abaagalwa, temwewuunyanga olw'okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw'okubakema, ng'abalabye eky'ekitalo:
13 naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza.
14 Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.
15 Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne:
16 naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.
17 Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda: kale, oba nga gusoose gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda?
18 Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonoonyi alirabika wa?
19 Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obulungi.