Yakobo

Essuula : 1 2 3 4 5

0:00
0:00

Essuula 4

Entalo ziva wa n'okulwana kuva wa mu mmwe? Si muno, mu kwegomba kwammwe okulwana mu bitundu byammwe?
2 Mwegomba so temulina: mutta, era mwegomba, ao temuyinza kufuna: mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba.
3 Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi; mulyoke mubikoze okwegomba kwammwe.
4 Mmwe abakazi abenzi temumanyi ng'omukwano gw'ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw'ayagala okubeera mukwano gw'ensi yeefuula mulabe wa Katonda.
5 Oba mulowooza ng'ekyawandiikibwa kyogerera bwereere? Omwoyo gwe yatuuza mu ffe gwegomba okuleeta obuggya?
6 Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.
7 Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.
8 Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri.
9 Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe: okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essaayu lifuuke okunakuwala.
10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
11 Temwogeraganangako bubi, ab'oluganda. Ayogera obubi ku w'oluganda, oba asalira omusango ow'oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango mateeka: naye bw'osalira omusango mateeka: nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w'omusango.
12 Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, oyo ayinza okulokola n'okuzikiriza, naye ggwe asalira omusango munno ggwe ani?
13 Kale nno mmwe aboogera nti Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi; tulimalayo omwaka gumu tulitunda tuliviisa amagoba:
14 naye nga temutegeera bya nkya Obulamu bwammwe buli nga kiki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo:
15 we mwandyogeredde nti Mukama waffe bw’alyagala tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti.
16 Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe: okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi.
17 Kale amanya okukola obulungi n'atakola, kye kibi eri oyo.