2 Timoseewo

Essuula : 1 2 3 4

0:00
0:00

Essuula 3

Naye tegeera kino nga mu nnaku ez'oluvannyuma ebiro eby'okulaba ennaku birijja.
2 Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu,
3 abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi,
4 ab'enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda;
5 nga balina ekifaananyi ky'okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo: era nabo obakubanga amabega.
6 Kubanga ku abo be bantu abasensera mu nnyumba ne banyaga abakazi abasirusiru abazitoowererwa ebibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu,
7 abayiga bulijjo, ne batayinza ennaku zonna kutuuka ku kutegeerera ddala mazima.
8 Era nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa, ne bano bwe batyo baziyiza amazima; bayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kukkiriza.
9 Naye tebalyeyongerako kuyitirira: kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeererwa ddala abantu bonna, era ng'obwa bali bwe bwali.
10 Naye gwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange,
11 okuyigganyizibwa kwange, okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali: era Mukama waffe yandokola mu byonna.
12 Naye era bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez'okutya Katonda banaayigganyizibwanga.
13 Naye abantu ababi n'abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.
14 Naye ggwe beeranga mu ebyo bye wayiga n'otegeerera ddala, ng'omanyi abakuyigiriza bwe bali;
15 era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu bulokovu olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
16 Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu;
17 omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.