1 Timoseewo

Essuula : 1 2 3 4 5 6

0:00
0:00

Essuula 3

Kyesigwa ekigambo ekyo nti Omuntu bw'ayagalanga obulabirizi, yeegomba mulimu mulungi.
2 Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, ayigiriza;
3 atayombera ku mwenge, atakuba; naye omuwombeefu, atalwana, ateegomba bintu;
4 afuga obulungi ennyumba ye ye, agonza abaana be mu kitiibwa kyonna;
5 (naye omuntu bw'atamanya kufuga nnyumba ye ye, ayinza atya okujjanjaba ekkanisa ya Katonda?)
6 si oyo eyaakakyuka, alemenga okwekulumbaza n'amala agwa mu musango gwa Setaani.
7 Era nate kimugwanira okubeeranga n'okutegeezebwa okulungi eri abo ab'ebweru, alemenga okugwa mu kuvumibwa ne mu kyambika kya Setaani.
8 Bwe batyo n'abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimibbirye, abatanywanga mwenge mungi, si beegombi ba bintu;
9 nga bakuuma ekyama eky'okukkiriza mu mwoyo omulungi.
10 Era nate abo basookenga okukemebwa, balyoke baweereze, nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
11 Bwe batyo n'abakazi kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abatatamiira, abeesigwa mu byonna.
12 Abaweereza babeerenga basajja ba mukazi omu, nga bafuga abaana baabwe obulungi n'ennyumba zaabwe bo.
13 Kubanga abamala okuweereza obulungi beefunira obukulu obulungi n'obugumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
14 Nkuwandiikidde ebyo nga nsuubira okujja gy'oli mangu;
15 naye bwe ndwanga olyoke obe ng'omanyi bwe kigwana okukolanga mu nnyumba ya Katonda, ye kkanisa ya Katonda omulamu, empagi n'omusingi eby'amazima.
16 Era awatali kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'alabibwa bamalayika, n'abuulirwa mu mawanga, n'akkirizibwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa.