2 Abasessaloniika
Essuula 3
Ebisigaddeyo, ab'oluganda, mu tusabirenga ekigambo kya Mukama waffe, kiwulukuke, kiweebwenga ekitiibwa, era nga mu mmwe;
2 era tulokoke eri abantu abatalina magezi, ababi; kubanga okukkiriza si kwa bonna.
3 Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza, anaabakuumanga eri omubi.
4 Era twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye tulagira era munaabikolanga.
5 Era Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe okutuuka mu kwagala kwa Katonda ne mu kugumiikiriza kwa Kristo.
6 Era tubalagira, ab'oluganda mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula bulungi newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe.
7 Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga: kubanga tetwalemwa kutambula bulungi mu mmwe;
8 so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n’okukoowa twakolanga emirimu ekiro n'emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe:
9 si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'ekyokulabirako mulyoke mutugobererenga.
10 Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bwagaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.
11 Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono, wabula egy'abalala.
12 Abali bwe batyo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo, okukolanga emirimu n'obuteefu balyoke balyenga emmere yaabwe bo.
13 Naye mmwe, ab'oluganda, temukoowanga mu kukola obulungi.
14 Era omuntu yenna bw'atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.
15 So temumulowoozanga nga mulabe, naye mumubuuliriranga ng'ow'oluganda.
16 Era Mukama waffe ow'emirembe yennyini abawenga emirembe ennaku zonna mu bigambo byonna. Mukama waffe abeerenga nammwe mwenna.
17 Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna: bwe ntyo bwe mpandiika.
18 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.