1 Abasessaloniika

Essuula : 1 2 3 4 5

0:00
0:00

Essuula 4

Kale, ab'oluganda, ebisigaddeyo, tubeegayirira tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwaweebwa ffe bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula; okweyongerangako nate.
2 Kubanga mumanyi ebiragiro bwe biri bye twabalagira ku bwa Mukama waffe Yesu.
3 Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi;
4 buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa,
5 si mu mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda;
6 alemenga okuyingirira muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo: kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okutegeereza ddala.
7 Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula mu butukuvu.
8 Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo gwe Omutukuvu.
9 Naye okuwandiikirwa ku by'okwagalanga ab'oluganda okwo temukwetaaga: kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga;
10 kubanga n'okukola mukola bwe mutyo ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira;
11 era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga ebyammwe mmwe, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira;
12 mulyoke mutambulirenga mu mpisa ennungi eri ab'ebweru, nga temuliiko kye mwetaaga.
13 Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.
14 Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alireeta bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.
15 Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.
16 Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira:
17 naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.
18 Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino.