Abaefeeso
Essuula 2
Era nammwe yabazuukiza bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n'ebibi byammwe,
2 bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, omwoyo ogukoza kaakano mu baana abatawulira;
3 era naffe fenna be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala:
4 naye Katonda, kubanga ye mugagga w'ekisa, olw'okwagala kwe okungi kwe yatwagala ffe,
5 era ffe bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo (mwalokoka lwa kisa),
6 n'atuzuukiza wamu naye, n'atutuuza wamu mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo Yesu:
7 mu mirembe egigenda okujja alyoke alage obugagga obusinga ennyo obw'ekisa kye mu bulungi obuli gye tuli mu Kristo Yesu:
8 kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda:
9 tekwava mu bikolwa, amuntu yenna aleme okwenyumirizanga.
10 Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu.
11 Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono;
12 nga mu biro biri mwali nga muli wala ne Kristo, mwali nga mubooleddwa mu kika kya Isiraeri, era mwali bannaggwanga eri endagaano ez'okusuubiza, nga temulina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi.
13 Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw'omusaayi gwa Kristo.
14 Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula,
15 bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, tawuleti ey'ebiragiro ebiri mu mateeka; alyoke atonde mu ye yennyini abo bombi okubeera omuntu omu omuggya, okuleeta emirembe;
16 era alyoke atabaganye bombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yattira obulabe ku gwo:
17 n'ajja n'ababuulira enjiri ey'emirembe mmwe abaali ewala, n'emirembe abaali okumpi:
18 kubanga ku bw'oyo ffe fembi tulina okusembera kwaffe eri Kitaffe mu Mwoyo omu.
19 Kale bwe mutyo temukyali bannaggwanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda,
20 kubanga mwazimbibwa ku musingi be batume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini bw'ali ejjinja eddene ery'oku nsonda;
21 mu oyo buli nnyumba yonna, bw'egattibwa obulungi, ekula okubeeranga yeekaalu entukuvu mu Mukama waffe;
22 mu oyo era nammwe muzimbibwa wamu okubeeranga ekisulo kya Katonda mu Mwoyo.