2 Abakkolinso

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13

0:00
0:00

Essuula 2

Naye kino nnakimalirira mu mwoyo gwange, obutajja nate na nnaku gye muli.
2 Kubanga nze bwe mbanakuwaza, kale ansanyusa ye ani wabula oyo nze gwe nnakuwaza?
3 N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja abo baleme okunnakuwaza abagwanira okunsanyusa; kubanga nneesiga mmwe mwenna, ng'essanyu lyange lye lyammwe mwenna.
4 Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina eri mmwe bwe kuli okungi enyo:
5 Naye omuntu bw'aba annakuwazizza, aba tannakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okuzitowa ennyo.
6 Kunaamumala ali bw'atyo okubonerezebwa okwo okw'abangi;
7 kyekivudde kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa, afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa ennaku ze nga ziyinze obungi.
8 Kyenva mbeegayirira okunyweza okwagala eri oyo.
9 Kubanga era kyennava mpandiika; ndyoke ntegeere okukemebwa kwammwe, oba nga muwulira mu bigambo byonna.
10 Naye gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye nsonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo;
11 Setaani alemenga kutwekulumbalizaako: kubanga tetuli ng'abatategeera nkwe ze.
12 Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe,
13 ssaalaba kuwummula mu mwoyo gwange, olw'obutasanga Tito muganda wange: naye ne mbasiibula ne ŋŋenda mu Makedoni.
14 Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawangula mu Kristo, n'atubikkuza evvumbe ery'okumutegeera ye mu buli kifo.
15 Kubanga tuli vvumbe ddungi erya Kristo eri Katonda mu abo abalokoka ne mu bo ababula;
16 eri abo ababula tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri bali tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza?
17 Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi b'ekigambo kya Katonda; naye olw'amazima, naye olwa Katonda, mu maaso ga Katonda, bwe tutyo bwe twogera mu Kristo.