Ebikolwa
Essuula 11
Abatume n'ab'oluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira ng'amawanga nabo bakkirizza ekigambo kya Katonda.
2 Awo Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemi, bali abakomole ne bawakana naye
3 nga bagamba nti Wagenda mu bantu abatali bakomole n'olya nabo.
4 Naye Peetero n'atanula n'abannyonnyola kinnakimu ng'agamba nti
5 Nze nnali mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne ndaba mu kwolesebwa ekintu nga kikka ng'essuuka ennene, nga kikwatiddwa ku birenge ebina okussibwa nga kiva mu ggulu, ne kinjijira:
6 bwe nneekaliriza amaaso ne ndowooza ne ndaba ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'eby'ekulula n'ennyonyi ez'omu bbanga.
7 Era ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti Peetero, yimirira osale olye.
8 Naye neŋŋamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo newakubadde ekibi tekiyingiranga mu kamwa kange n'akatono.
9 Naye eddoboozi ne linziramu omulundi ogw'okubiri nga liva mu ggulu nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo.
10 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu; byonna ne birinnyisibwa nate mu ggulu.
11 Kale, laba, amangu ago abantu basatu baali nga bayimiridde mu maaso g'ennyumba mwe twali, abaatumibwa gye ndi okuva e Kayisaliya.
12 Omwoyo n'aŋŋamba okugenda nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne bagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y'oli;
13 n'atubuulira bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde ng'agamba nti Tuma e Yopa oyite Simooni erinnya lye ery'okubiri Peetero;
14 alikubuulira ebigambo ebirikulokola ggwe n'ennyumba yo yonna.
15 Bwe nnali kye njije ntanule okwogera, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako era nga bwe yasookera ku ffe.
16 Ne njijukira ekigambo kya Mukama waffe bwe yayogera nti Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.
17 Kale Katonda oba nga abawadde ekirabo ekyo nga ffe okwenkanankana, bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze nnali ani eyandiyinzizza okuziyiza Katonda?
18 Bwe baawulira ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Kale Katonda; awadde n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu.
19 N'abo abaasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu mulala wabula Abayudaaya bokka.
20 Naye waaliwo abantu mu bo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu.
21 N'omukono gwa Mukama waffe gwali nabo: ekibiina kinene eky'abakkiriza ne bakyukira Mukama waffe.
22 Ekigambo ekyo ne kiwulirwa okutuuka mu matu g'ekkanisa eyali mu Yerusaalemi; ne batuma Balunabba okutuuka mu Antiyokiya:
23 naye bwe yamala okutuuka n'alaba ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonna nti Mumalirire mu mutima okwekwata ku Mukama waffe:
24 kubanga yali muntu mulungi, n'ajjula Omwoyo Omutukuvu n'okukkiriza. Ekibiina kinene ne kireetebwa eri Mukama waffe.
25 N'avaayo okugenda e Taluso okunoonya Sawulo:
26 bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya.
27 Mu nnaku ezo bannabbi ne bava e Yerusaalemi okutuuka Antiyoklya.
28 N'ayimirira omu ku bo, erinnya lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Waliba enjala nnyingi mu nsi zonna: nayo yabaawo ku mirembe gya Kulawudiyo.
29 Abayigirizwa, buli muntu nga bwe yalina ebintu, ne bateesa okuweereza ab'oluganda abaali batuula e Buyudaaya:
30 n'okukola ne bakola bwe batyo ne baweereza abakadde mu mukono gwa Balunabba ne Sawulo.