Malaki
Essuula 1
Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama eri Isiraeri ekyajjira mu Malaki.
2 Nnabaagala, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Watwagala otya? Esawu teyali muganda wa Yakobo? bw'ayogera Mukama: era naye nnamwagala Yakobo;
3 naye Esawu nnamukyawa, ne nfuula ensozi ze okuba amatongo, ne mpa obusika bwe ebibe eby'omu ddungu.
4 Kubanga Edomu ayogera nti Tukubiddwa wansi, naye tulidda ne tuzimba ebifo ebyazika; bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bo balizimba, naye nze ndyabya: era abantu banaabayitanga nti Nsalo ya bubi, era nti Bantu Mukama b'anyiigira ennaku zonna.
5 Era amaaso gammwe galiraba, ne mwogera nti Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isiraeri.
6 Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we: kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa? era oba nga ndi mukama kitammwe okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ai bakabona abanyooma erinnya lyange. Era mwogera nti Twali tunyoomye tutya erinnya lyo?
7 Muweerayo ku kyoto kyange omugaati ogwonoonese. Era mwogera nti Twakwonoona tutya? Kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama teriimu ka buntu.
8 Era bwe muwaayo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, nga si bubi! era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, nga si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? oba anakkiriza amaaso go? bw'ayogera Mukama w'eggye.
9 Kale nno mbeegayiridde musabe ekisa kya Katonda, atukwatirwe ekisa: ebyo byabaawo ku bwammwe: waliwo ku mmwe gw'anakkirizaako amaaso ge? bw'ayogera Mukama w’eggye.
10 Mu mmwe singa mubaddemu n'omu eyandiggaddewo enzigi, muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange obwereere! Sibasanyukira n'akatono, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sikkirize kiweebwayo eri omukono gwammwe.
11 Kubanga okuva enjuba gy'eva okutuusa gy'egwa erinnya lyange kkulu mu b'amawanga; era obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, n'ekiweebwayo ekirongoofu: kubanga erinnya lyange kkulu mu b'amawanga, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12 Naye mmwe mulivumisa kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'ebibala byayo, ye mmere ye, teriimu ka buntu.
13 Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! era mugisoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo: nnandikkirizza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama.
14 Naye oyo alimba akolimirwe, alina ennume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo ssaddaaka eri Mukama ekintu ekiriko obulema: kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'erinnya lyange lya ntiisa mu b'amawanga.