Mikka
Essuula 5
Kaakano oneekuŋŋaanya bibiina bibiina, ggwe omuwala w'ebibiina; atuzingizizza ffe; balikuba oluyi omulamuzi wa Isiraeri n'omuggo.
2 Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo.
3 Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro alumwa okuzaala lw'alizaala: kale baganda be abasigalawo balikomawo eri abaana ba Isiraeri.
4 Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era balibeerera awo; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero z’ensi.
5 Era omuntu oyo aliba mirembe gyaffe; Omwasuli bw'aliyingira mu nsi y'ewaffe, bw'alitambula mu mayumba gaffe, kale tulimuyimusizaako abasumba musanvu, n’abantu munaana ab'ekitiibwa.
6 Nabo balyonoona ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi baligyonoona bwe baliba nga bayingiramu; naye alitulokola eri Omwasuli bw'alituuka mu nsi y'ewaffe era bw'alitambula mu nsalo z'ewaffe.
7 Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo.
8 Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma mu nsolo ez'omu kibira, ng'empologoma ento mu bisibo by'endiga; bw'eyitamu, erinnyirira era etaagulataagula so tewali mulokozi.
9 Omukono gwo guyimuke ku balabe bo; n'abakukyawa bonna bazikirire.
10 Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go;
11 era ndizikiriza ebibuga eby'omu nsi y'ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna;
12 era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate;
13 era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n'empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy'engalo zo.
14 Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo.
15 Era ndiwalana eggwanga n'obusungu n'ekiruyi ku mawanga agatawulira.