Yoweeri

1 2 3

0:00
0:00

Essuula 3

Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndikomyawo obusibe bwa Yuda ne Yerusaalemi,
2 ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosaffaati; kale ndiyima eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyirizza mu mawanga ne bagabana ensi yange.
3 Era bakubidde abantu bange obululu: era bawaddeyo omulenzi olw'omukazi omwenzi, ne batunda omuwala olw'omwenge, balyoke banywe.
4 Weewaawo, nammwe nfaayo ki eri mmwe, mmwe Ttuulo ne Sidoni n'enjuyi zonna ez'Obufirisuuti? Mulinsasula? n'okusasula bwe muliba nga munsasudde, ndyanguya mangu ndisambyako okuzza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe.
5 Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi ebisanyusa;
6 era abaana ba Yuda n'abaana ba Yerusaalemi mwabaguza abaana b'Abayonaani, mubajjulule okubatwala ewala n'ensalo yaabwe:
7 laba, ndibagolokosa mu kifo gye mwabatunda, era ndizza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe:
8 era nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe mu mukono gw'abaana ba Yuda, n'abo balibaguza abasajja ab’e Seba, eggwanga eriri ewala: kubanga Mukama ye akyogedde.
9 Mulangirire kino mu mawanga; mutegeke obulwa: mugolokose abasajja ab'amaanyi: abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke.
10 Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe okuba amafumu: omunafu ayogere nti Ndi wa maanyi.
11 Mwanguwe mujje, mmwe mwenna amawanga ageetoolodde mukuŋŋaane: serengesa eyo ababo ab'amaanyi, ai Mukama:
12 Amawanga gayimuke gambuke mu kiwonvu kya Yekosaffaati: kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetoolodde.
13 Muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde: mujje musambe; kubanga essogolero lijjudde, amabanvu gayiika; kubanga obubi bwabwe bungi.
14 Oluggube, oluggube, oluggube lw'abantu bali mu kiwonvu eky'okumaliririramu! kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu eky'okumaliririramu.
15 Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo.
16 Awo Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; n'eggulu n'ensi birikankana: naye Mukama aliba buddukiro eri abantu be era ekigo eri abaana ba Isiraeri.
17 Bwe mutyo mulimanya nga nze ndi Mukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu: kale Yerusaalemi kiriba kitukuvu so tewaliba bannaggwanga abalikiyitamu nate.
18 Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, lulifukirira ekiwonvu Sittimu.
19 Misiri eriba matongo, ne Edomu eriba ddungu eryalekebwawo, olw'ekyejo ekyagirirwa abaana ba Yuda, kubanga bayiye omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe.
20 Naye Yuda alibeerera ennaku zonna, ne Yerusaalemi okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna.
21 Era ndirongoosa omusaayi gwabwe gwe ssaalongoosa: kubanga Mukama abeera ku Sayuuni.