Yobu Job

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42

0:00
0:00

Essuula 5

Koowoola nno; waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw'onookyukira?
2 Kubanga okweralirira kutta omusirusiru, Nobuggya butta atalina magezi.
3 Nalaba omusirusiru ng'asimba emmizi: Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu.
4 Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, So tewali wa kubawonya.
5 Omwaka gwabwe omuyala agulya, N'aguggya ne mu maggwa, N'omutego guwankirawankira ebintu byabwe.
6 Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nfuufu, So n'obuyinike tebuva mu ttaka;
7 Naye abantu bazaalirwa obuyinike, Ng'ensasi bwe zibuuka waggulu.
8 Naye nze, njagala okunoonya Katonda, Era njagala okulekera Katonda ensonga yange:
9 Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Eby'ekitalo ebitabalika:
10 Atonnyesa enkuba ku nsi, N'asindika amazzi ku nnimiro:
11 Awo n'agulumiza abo abatoowazibwa; N'abo abali mu nnaku ne basitulibwa ne baba mirembe.
12 Atta enkwe ez'abagerengetanya, Emikono gyabwe ne gitayinza kutuukiriza bye batandise.
13 Akwasa abagezi olukwe lwabwe bo: N'okuteesa kw'ab'ekyejo kumenyekera ddala.
14 Baba n'ekizikiza emisana, Era bawammanta mu ttuntu nga kiro.
15 Naye alokola mu kitala eky'akamwa kaabwe, Alokola eyeetaaga mu mukono gw'ow'amaanyi.
16 Kale omwavu n'aba n'okusuubira, Obutali butuukirivu ne buziba akamwa kaabwo.
17 Laba aweereddwa omukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kubuulirira kw'Omuyinza w'ebitu byonna.
18 Kubanga ye alumya era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze z'eziwonya.
19 Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga; Weewaawo, mu musanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako.
20 Mu njala anaakununulanga obutafa; Ne mu ntalo anaakuwonyanga mu maanyi g'ekitala.
21 Onookwekebwanga awali okubambula kw'olulimi; So tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga.
22 Onoosekereranga okuzikirira n'enjala; So tootyenga nsolo za ku nsi.
23 Kubanga onoolagaananga endagaano n'amayinja ag'omu ttale; N'ensolo ez'omu nsiko zinaabanga n'emirembe gy'oli.
24 Era onoomanyanga ng'eweema yo eri mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo n'otobulwa kintu.
25 Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo linaabanga kkulu. N'enda yo ng'omuddo ogw'ettale.
26 Olituuka mu ntaana yo ng'owezezza emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kijja mu ntuuko zaakyo.
27 Laba, ekyo twakikenneenya, bwe kiri bwe kityo. Kiwulire okimanye olyoke obeere bulungi.